17 Naye oba nga amataggi agamwei gamenyebwakku nawe eyaali omuzeituunni ogwa mukisiiko, nosimbibwa omukiffo kyagwo, ogabanne okubugeigei obwa muzeituunni, 18 Tewenyumirizanga oku mataggi ago. Niwabanga wenyumiriza, ezzukira nti tiniwe akwatiira ekikolo, naye ekikoolo nikyo kikuwaniira.