lke_mrk_text_reg/12/38.txt

1 line
322 B
Plaintext

\v 38 Awo mu kwegeresya kwe n'abakoba nti Mwekuume Abawandiiki abataka okutambula nga bavaire engoye empanvu, n'okubasugirya mu butale, \v 39 n'entebe egy'oku mwanjo mu makuŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga; \v 40 abalya enyumba gya banamwandu, era abasaba einu mu bunanfuusi; abo balikola omusango ogusinga obunene.