lke_mrk_text_reg/15/01.txt

1 line
347 B
Plaintext

\c 15 \v 1 Awo amangu ago bwe bwakyeire amakeeri, bakabona abakulu N'abakaire n'abawandiiki n'ab'omu lukiiko bonabona ne bateesia, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato. \v 2 Awo Piraato n'amubuulya nti Niiwe Kabaka w'Abayudaaya? Bwe yayiriremu n'amugamba nti Niiwe otumwire. \v 3 Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi.