lke_mrk_text_reg/10/32.txt

1 line
497 B
Plaintext

\v 32 Bwebabbaire mu ngira nga bambuka e Yerusaalemi; no Yesu yabbaire ng'abatangiire, ne beewuunya, na babbaire abasengererya ne batya: Awo ate n'atwala eikumi n'ababiri, n'atandika okubabuulira ebigambo ebyaba okumubbaaku, nti \v 33 Bona, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiiki; balimusalira omusango okumwita, balimuwaayo eri ab'amawanga: \v 34 balimuduulira, balimufujira amatanta, balimukubba, balimwita; bwe walibitawo enaku eisatu alizuukira.