lke_mrk_text_reg/10/23.txt

1 line
399 B
Plaintext

\v 23 Awo Yesu ne yeetooloolya amaiso, n'akoba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! \v 24 Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'airamu ate, n'abakoba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! \v 25 Niikyo ekyangu eŋamiya okuyita mu nyindo y'empisio, okusinga omugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.