lke_mrk_text_reg/10/01.txt

1 line
428 B
Plaintext

\c 10 \v 1 Awo n'agolokoka n'avaayo, n'aiza mu bitundu eby'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋaanira w'ali ate; nga bwe yebityanga n'abegeresya ate. \v 2 Awo Abafalisaayo ne baiza gy'ali, ne bamubuulya nti Kisa omuntu okubbinga mukali we? nga bamukema. \v 3 Naye n'airamu n'abakoba nti Musa yabalagiire atya? \v 4 Ne bakoba nti Musa yaikirirye okuwandiikanga ebbaluwa ey'okubbinga; kaisi abbingibwenga.