\v 2 era ababoine abayigirizwa be abamu ne balya emere yaabwe n'engalo embibbi, niigyo egitanaabiibwe \v 3 Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonabona bwe batanaabire inu mu ngalo gyabwe, tebaliire, kubanga bakwata obulombolombo obw'abakaire \v 4 era bwe baviire mu katale, bwe batanaabire, tebaliire: era waliwo n'ebindi bingi bye baaweweibwe okukwata, okunaabyanga ebikompe; n'ebibya, n'entamu egy'ebikomo.