\c 2 \v 1 Awo enaku bwe gyabitirewo n'ayingira ate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nyumba. \v 2 Ne bakuĊ‹aana bangi, n'okutuukawo ne batatuukawo ate waire mu mulyango: n'ababuulira ekigambo.