\v 12 Amangu ago Omwoyo n'amubbingira mu idungu. \v 13 N'amalayo mu idungu enaku ana ng'akemebwa Setaani; n'abba wamu n'ensolo; bamalayika ne bamuweereza.