\v 22 Naye Yesu n'airamu n'akoba nti Temumaite kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye njaba okunywaku? Ne bamukoba nti Tusobola. \v 23 N'abakoba nti Ku kikompe kyange mulinywiraku dala: naye okutyama ku mukono gwange omuliiro, no ku mukono omugooda, ti niinze nkugaba, wabula eri abo Itawange be yakugisiire. \v 24 Na badi eikumi bwe baawuliire, ne banyiigira ab'oluganda ababiri.