lke_mal_text_reg/02/05.txt

1 line
457 B
Plaintext

\v 5 Endagaanu yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nabimuwaire ebyo kaisi atye, n'antya n'atekemukira eriina lyange. \v 6 Eiteeka ery'amazima lyabbanga mu munwa gwe, so n'obutali butuukirivu tebwabonejere mu mimwa gye: yatambulanga nanze mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu. \v 7 Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezerye okumanya, era bandisagiire amateeka mu munwa gwe: kubanga niiye mubaka wa Mukama w'eigye.