lke_mal_text_reg/01/13.txt

1 line
485 B
Plaintext

\v 13 Era mutumula nti Bona, omulimu guno nga guyingire! era mugisoozerye, bw'atumula Mukama w'eigye; era muleetere ekyo ekyanyagiibwe olw'amaani, n'ekiwenyera, n'ekirwaire; mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nandikiriirye ekyo mu mukono gwanyu? bw'atumula Mukama. \v 14 Naye oyo abbeya akolimirwe, alina enume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo sadaaka eri Mukama ekintu ekiriko obuleme: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'atumula Mukama w'eigye, n'eriina lyange lya ntiisia mu b'amawanga.