\c 3 \v 1 Kubanga, bona, mu naku egyo no mu biseera ebyo, bwe ndiiryawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi, \v 2 ndikuŋaanya amawanga gonagona ne mbaserengetya mu kiwonvu kya Yekosafaati; kale ndiyema eyo ne mpozererya abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaaniirye mu mawanga ne bagabana ensi yange. \v 3 Era bakubbiire abantu bange obululu: era bawaireyo omulenzi olw'omukali omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, kaisi banywe.