lke_jhn_text_reg/12/01.txt

1 line
477 B
Plaintext

\c 12 \v 1 Awo bwe gyabbaire nga gisigaireyo enaku mukaaga okutuuka ku Kubitaku, Yesu n'aiza e Besaniya, eyabbaire Lazaalo, Yesu gwe yazuukizirye mu bafu. \v 2 Awo ne bamufumbirayo emere ey'ekyeigulo: no Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'abba mumu ku ibo abbbaire batyaime naye ku mere. \v 3 Awo Malyamu n'akwata laatiri ey'amafuta ag'omugomusita ag'omuwendo omungi einu, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'ataanya ebigere bye n'enziiri gye: enyumba n'eizula akaloosa ak'amafuta.