lke_jhn_text_reg/18/36.txt

1 line
427 B
Plaintext

\v 36 Yesu n'airamu nti Obwakabaka bwange ti bwo mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubbaire bwo mu nsi muno, basaiza bange bandirwaine, ne ntaweebwayo mu Bayudaaya: naye atyanu obwakabaka bwange ti bwa wano. \v 37 Awo Piraato n'amukoba nti Kale niiwe kabaka? Yesu n'airamu nti Otumwire, kubanga ninze kabaka. Nze nazaalirwe kikyo, n'ekyo niikyo kyandeetere mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eidoboozi lyange.