lke_jhn_text_reg/05/30.txt

1 line
318 B
Plaintext

\v 30 Nze tinsobola kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwe nsonga; kubanga tinsagira bye ntaka nze, wabula eyantumire by'ataka. \v 31 Bwe neetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange ti kwa mazima. \v 32 Waliwo ogondi ategeeza ebyange; nzena maite nti ebyange by'ategeeza bya mazima.