lke_jhn_text_reg/05/01.txt

1 line
535 B
Plaintext

\c 5 \v 1 Oluvanyuma lw'ebyo ne wabba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi. \v 2 Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'entama wabbairewo ekidiba, kye beetta mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriku ebigangu bitaano. \v 3 Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwaire, abaduka b'amaiso, abaleme, abakoozimbire, nga balindirira amaizi okubbimba: \v 4 kubanga malayika yaikanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abbimbisia amaizi: oyo eyasookanga okwabamu, ng'amaizi gamalire okubbimba, yawonanga obulwaire bwe bwe yabbanga nabwo.