\v 7 Teweewuunya kubanga nkukobere nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. \v 8 Empewo ekuntira gy'etaka, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomaite gy'eva, waire gy'eyaba: atyo bw'abba buli muntu yenayena azaalibwa Omwoyo.