\c 7 \v 1 Oluvanyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Galiraaya: kubanga teyatakire kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya babbaire basala amagezi okumwita. \v 2 Naye embaga y'Abayudaaya yabbaire erikumpi okutuuka, niiyo ey'ensiisira.