\v 48 Awo Yesu n'amukoba nti Bwe mutalibona bubonero n'eby'amagero temulikirirya n'akatono. \v 49 Omukungu n'amukoba nti Sebo, serengeta akaana kange nga kakaali kufa. \v 50 Yesu n'amukoba nti Yaba; omwana wo mulamu. Omuntu oyo n'aikirirya ekigambo Yesu ky'amukobere, n'ayaba.