lke_heb_text_reg/08/03.txt

1 line
518 B
Plaintext

\v 3 Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne sadaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubba n'ekintu eky'okuwaayo. \v 4 Kale singa yabbaire ku nsi, teyandibbaire kabona n'akatono, nga waliwo abawaireyo ebirabo ng'amateeka bwe gali; \v 5 abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu igulu, nga Musa bwe yabuuliirwe Katonda, bwe yabbaire ng'ayaba okukola eweema: kubanga atumula nti Tolemanga okukola byonabyona ng'ekyokuboneraku bwe kiri kye walagiibwe ku lusozi.