1 line
635 B
Plaintext
1 line
635 B
Plaintext
\v 3 Ne basimba ekyoto ku ntebe yaakyo; kubanga entiisya yababbaireku olw'abantu ab'omu nsi: ne baweerayo okwo ebiweebwayo ebyokyebwa eri Mukama, ebiweebwayo ebyokyebwa amakeeri n'akawungeezi. \v 4 Ne bakwatanga embaga ey'ekigangu nga bwe kyawandiikiibwe ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwabbaire, ng'ekiragiro bwe kyabbaire, ng'ebyagwaniire buli lunaku bwe byabbaire; \v 5 n'oluvanyuma ekiweebwayo ekyokyebwa eky'emirembe gyonagyona, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga gyonagyona eza Mukama egyalagiirwe, n'ebya buli muntu eyawaireyo ng'atakire ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama. |