\v 28 Olw'e idoboozi ery'okuleekaana kw'a babbinga bo, ebyalo ebirirainewo biritengera. \v 29 N'abo bonabona abakwata enkasi, abalunyanza n'a babbinga bonabona ab'oku nyanza baliva mu byombo byabwe, balyemerera ku lukalu, \v 30 era baliwulirya eidoboozi lyabwe, nga bakukungira, era baliira nga baliku obwinike, ni basuula enfuufu ku mitwe gyabwe, era balyekulukuunya mu ikoke.