Fri Oct 18 2024 17:12:03 GMT+0900 (Yakutsk Standard Time)

This commit is contained in:
amaziba_ministries 2024-10-18 17:12:04 +09:00
parent 2f3f981880
commit 89dcfb1935
10 changed files with 10 additions and 0 deletions

1
39/25.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 25 Mukama Katonda kyava atumula Ati nti Atyanu nairyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira enyumba yonayona eya Isiraeri; era ndikwatirwa eriina lyange eitukuvu buyaaka. \v 26 Era balibbaaku ensoni gyabwe n'o kusobya kwabwe kwonakwona kwe bansobya, bwe balityama mu nsi yaabwe nga babulaku kye batya, so nga wabula alibatiisya; \v 27 bwe ndibba nga mbairiryewo okubatoola mu mawanga, era nga mbakuŋaanyirye okuva mu nsi egy'abalabe baabwe, era nga ntukuzibwa mu ibo mu maiso g'a mawanga mangi.

1
39/28.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 28 Kale balimanya nga ninze Mukama Katonda waabwe, kubanga nabasiindikire mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋaanyirye mu nsi yaabwe ibo; so tindireka ate n'o mumu ku ibo okubba eyo; \v 29 so tindibagisa ate maiso gange: kubanga nfukire omwoyo gwange ku nyumba y'e Isiraeri; bw'atumula Mukama Katonda.

1
40/01.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\c 40 \v 1 Mu mwaka ogw'abiri n'e itaanu ogw'okusibibwa kwaisu omwaka nga gwakaiza gutandike ku lunaku olw'e ikumi olw'o mwezi mu mwaka ogw'e ikumi n'e ina ekibuga nga kimalire okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne gubba ku nze, n'a ntwalayo. \v 2 N'antwala mu nsi ye Isiraeri mu kwolesebwa kwa Katonda, n'anjikya ku lusozi oluwanvu einu, okwabbaire ng'embala y'e kibuga ku bukiika obulyo.

1
40/03.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 3 N'antwalayo, kale, bona, nga waliwo omusaiza; enfaanana ye ng'enfaanana ey'e kikomo, ng'alina omuguwa ogw'e nkosi mu mukono gwe n'o lugada olupima; n'ayemerera mu mulyango. \v 4 Omusaiza oyo n'ankoba nti mwana w'o muntu linga n'a maiso go, owulire n'amatu go, oteeke omwoyo gwo ku byonabyona bye naakulagire; kubanga kyoviire oleetebwa wano kaisi mbikulage: byonabyona bye wabona obikoberenga enyumba ya Isiraeri.

1
40/05.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 5 Awo, bona, ekisenge ewanza w'e nyumba okwetooloola, n'o mu mukono gw'o musaiza nga mulimu olugada olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono mukono oluta: awo n'agera obugazi bw'e nyumba, olugada lumu; n'o bugulumivu olugada lumu: \v 6 Awo n'a iza eri omulyango ogulingirira ebuvaisana, n'a niina ku madaala gaagwo; n'agera awemererwa ow'o mulyango, obugazi bwawo olugada lumu: n'awemerewa awandi, obugazi bwawo olugada lumu. \v 7 Na buli nyumba obuwanvu bwayo olugada lumu n'o bugazi bwayo olugada lumu; ne wakati w'amayu emikono itaanu; n'a wayingirirwa aw'o mulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera enyumba, waaliwo olugada lumu.

1
40/08.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 8 Era n'agera n'e kisasi eky'o ku mulyango okwolekera enyumba, olugada lumu. \v 9 Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'e mifuubeeto gyamu, emikono ibiri; n'e kisasi eky'oku mulyango kyayolekeire enyumba. \v 10 N'a mayu ag'oku mulyango ebuvaisana gabbaire asatu eruuyi n'a satu eruuyi; ago gonsatu g'e kigera kimu n'e mifuubeeto gyabbaire ekigera kimu eruuyi n'e ruuyi

1
40/11.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 11 Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono ikumi; n'o buwanvu bw'o mulyango emikono ikumi n'e isatu; \v 12 n'eibbanga eryabbaire mu maiso g'a mayu, omukono gumu eruuyi, n'e ibbanga omukono gumu eruuyi; n'a mayu emikono mukaaga eruuyi n'e mikono mukaaga eruuyi. \v 13 N'agera omulyango okuva ku nyumba waigulu okutuuka ku nyumba ginaaye waigulu, obugazi emikono abiri na itaanu; olwigi nga lwolekera olwigi.

1
40/14.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 14 Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga; n'o luya lwatuukire ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola. \v 15 N'okuva ku bweni bw'o mulyango awayingirirwa okutuuka ku bweni obw'ekisasi eky'o munda eky'o ku mulyango gyabbaire emikono ataanu. \v 16 Era amayu gabbaireku ebituli ebyazibiibwe, n'e mifuubeeto gyago egyabbire munda w'o mulyango enjuyi gyonagyona, era n'ebizizi bityo byabbaireku ebituli: era munda mwabbairemu ebituli okwetooloola: na ku buli mufuubeeto kwabbaireku enkindu.

1
40/17.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
\v 17 Awo n'a ntwala mu luya olw'e wanza, era, bona, nga waaliwo ebisenge n'a mabbaale amaalirire, ebyakoleirwe oluya okwetooloola: ebisenge abiri byabbaire ku mabbaale ago amaalirire. \v 18 N'amabbaale amaalirire gaali ku mbali kw'e miryango, okwekankana n'o buwanvu obw'e miryango, niigo mabbaale amaalirire age wansi. \v 19 Awo n'agera obugazi okuva ku bweni obw'o mulyango ogwa wansi okutuuka ku bweni obw'o luya olw'o munda ewanza, emikono kikumi, ebuvaisana n'o bukiika obugooda:

1
40/title.txt Normal file
View File

@ -0,0 +1 @@
Ensuula 40