lke_1jn_text_reg/02/27.txt

1 line
521 B
Plaintext

\v 27 Mwena okufukibwaku amafuta kwe mwaweweibwe iye kubba mu imwe, so temwetaaga muntu yenayena okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonabyona, era kwa mazima so ti bubbeyi, era nga bwe kwabayigirizirie, mubbenga mu iye. \v 28 Ne atyanu, abaana abatobato, mubbenga mu iye; bw'alibonesebwa kaisi tubbe n'obugumu, era ensoni gireke okutukwatira mu maiso ge mu kwiza kwe. \v 29 Oba nga mumaite nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaaliibwe iye.