112 lines
9.8 KiB
Plaintext
112 lines
9.8 KiB
Plaintext
\id 2TI
|
||
\ide UTF-8
|
||
\h 2 Timoseewo
|
||
\toc1 2 Timoseewo
|
||
\toc2 2 Timoseewo
|
||
\toc3 2ti
|
||
\mt 2 Timoseewo
|
||
\c 1
|
||
\cl Ensuula 1
|
||
\p
|
||
\v 1 Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okutaka kwa Katonda, ng'okusuubiza bwe kuli okw'obulamu obuli mu Kristo Yesu,
|
||
\v 2 eri Timoseewo, omwana wange omutakibwa: ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Kristo Yesu Mukama waisu bituuke gy'oli.
|
||
\p
|
||
\v 3 N'ebalya Katonda gwe mpeerezia okuva ku bazeiza bange mu mwoyo omusa, bwe nkwijukira obutayosya mu kusaba kwange emisana n'obwire
|
||
\v 4 nga nkulumirwa okubona, bwe njijukira amaliga go, kaisi ngizule eisanyu;
|
||
\v 5 bwe naijukiziibwe okwikirirya okutali kwo bukuusa okuli mu iwe; okwabbanga oluberyeberye mu muzeizawo Looyi ne mu maawo Ewuniike, era ntegereire kimu nga kuli ne mu iwe.
|
||
\v 6 Kyenva nkwijukirya okuseesianga ekirabo kya katonda ekiri mu iwe olw'okuteekebwaku emikono gyange.
|
||
\v 7 Kubanga katonda teyatuwaire ife omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaani era ogw'okutaka era ogw'okwegenderezanga.
|
||
\v 8 Kale, tokwatirwanga nsoni kutegeezia kwa mukama waisu, waire nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaani ga katonda bwe gali;
|
||
\v 9 eyatulokoire n'atweta okweta okutukuvu, ti ng'ebikolwa byaisu bwe biri, wabula okumalirira kwe iye n'ekisa bwe biri, kye twawereirwe mu kristo yesu emirembe n'emirembe nga gikaali kubbaawo,
|
||
\v 10 naye bibonesebwa atyanu olw'okwolesebwa kw'omulokozi waisu kristo yesu, eyatoirewo okufa n'amulisya obulamu n'obutazikirira olw'enjiri,
|
||
\v 11 gye nateekeirwewo omubuulizi era omutume era omwegeresya.
|
||
\v 12 Era kyenva mbonaabona ntyo: naye tinkwatibwa nsoni; kubanga maite gwe naikiriirye, ne ntegeerera dala ng'ayinza okukuumanga kye namugisisirye okutuusya ku lunaku ludi.
|
||
\v 13 Nywezianga eky'okuboneraku eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kwikirirya ne mu kutaka okuli mu kristo yesu.
|
||
\v 14 Ekintu ekisa kye wagisisiibwe okikuumenga n'omwoyo omutukuvu, abba mu ife.
|
||
\p
|
||
\v 15 Kino okimaite nga bonabona abali mu asiya bankubbire amabega; ku abo niiye fugero ne kerumogene.
|
||
\v 16 Mukama waisu asaasire ennyumba ya onesifolo: kubanga yampumulyanga emirundi mingi, so teyakwatiirwe nsoni lujegere lwange,
|
||
\v 17 naye bwe yabbaire mu rooma n'anyiikiire okusagira n'okubona n'ambona
|
||
\v 18 (mukama waisu amuwe okubona okusaasirwa eri mukama waisu ku lunaku ludi); era n'okuweereza kwonakwona kwe yaweerezianga mu efeso, iwe okutegeera kusa inu.
|
||
\c 2
|
||
\cl Ensuula 2
|
||
\p
|
||
\v 1 Kale iwe, mwana wange, bbanga wa maani mu kisa ekiri mu kristo yesu.
|
||
\v 2 Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulizi abangi, ebyo bigisisyenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okwegeresya n'abandi.
|
||
\v 3 Bonaboneranga wamu nanze ng'omulwani omusa owa kristo yesu.
|
||
\v 4 Wabula mulwani bw'atabaala eyeeyingizya mu bizibu eby'obulamu buno, kaisi asiimibwe eyamuwandiikire okubba omulwani.
|
||
\v 5 Naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.
|
||
\v 6 Omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala.
|
||
\v 7 Lowooza kye ntumwire; kubanga mukama waisu yakuwanga okutegeera mu bigambo byonabyona.
|
||
\p
|
||
\v 8 Ijukira yesu kristo, nga yazuukiire mu bafu, ow'omu izaire lya dawudi, ng'enjiri yange bw'etumula:
|
||
\v 9 gye mbonaboneramu okutuusia ku kusibibwa, ng'akola obubbiibi; naye ekigambo kya katonda tekisibibwa.
|
||
\v 10 Kyenva ngumiikiriza byonabyona olw'abalonde, era bona kaisi bafune obulokovu obuli mu kristo yesu, wamu n'ekitiibwa ekitawaawo.
|
||
\v 11 Ekigambo kino kyesigwa nti kuba oba nga twafiire naye, era tulibba balamu naye
|
||
\v 12 oba nga tugumiinkiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ife:
|
||
\v 13 oba nga tetwikirirya, iye abba mwesigwa kubanga tayinza kwebbeya.
|
||
\p
|
||
\v 14 Ebyo obibaijukiryanga, ng'obakuutirira mu maiso ga mukama waisu, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira.
|
||
\v 15 Fubanga okweraga ng'osiimibwa katonda, omukozi atakwatibwa nsoni, abitya wakati ekigambo eky'amazima.
|
||
\v 16 Naye ebigambo ebibulamu ebitali bye idiini obyewalanga: kubanga balibitirira mu butatya katonda,
|
||
\v 17 n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo (eibbwa): ku abo niiye kumenayo ne fireeto;
|
||
\v 18 kubanga baakyama mu mazima, nga batumula ng'okuzuukira kwamalire okubbawo, era waliwo abantu be baafundikire okwikirirya kwabwe.
|
||
\v 19 Naye omusingi gwa katonda omugumu gubbeerawo, nga gulina akabonero kano nti mukama waisu amaite ababe: era nti yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula eriina lya mukama waisu.
|
||
\p
|
||
\v 20 Naye mu nyumba enene temubbaamu bintu bya zaabu na bya feeza byonka, naye era n'eby'emisaale n'eby'eibumba; n'ebindi eby'ekitiibwa, n'ebindi ebitali bye kitiibwa
|
||
\v 21 kale omuntu bwe yeerongoosyaku ebyo, yabbanga kintu eky'ekitiibwa, ekyatukuziibwe, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezeibwe buli mulimu omusa.
|
||
\v 22 Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye osengereryenga obutuukirivu, okwikirirya, okutaka, emirembe awamu n'abo abamusaba mukama waisu mu mwoyo omulongoofu.
|
||
\v 23 Naye empaka egy'obusirusiru era egy'obutegeresebwa ogirekanga, ng'omaite nga gizaala okulwana.
|
||
\v 24 Naye omuwidu wa mukama waisu tekimugwanira kulwananga, wabula okubbanga omwikaikamu eri bonabona, omuyigiriza, omugumiinkiriza,
|
||
\v 25 abuulirira n'obuwombeefu abawakani, koizi oba nga katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera dala amazima,
|
||
\v 26 era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa setaani, oyo ng'amalire okubakwatisya okukolanga okutaka kw'odi.
|
||
\c 3
|
||
\cl Ensuula 3
|
||
\p
|
||
\v 1 Naye tegeera kino nga mu naku egy'oluvanyuma ebiseera eby'okubona enaku biriiza.
|
||
\v 2 Kubanga abantu balibba nga betaka bonka, abataka ebintu, abeenyumirizia, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazaire baabwe, abateebalya, abatali batukuvu,
|
||
\v 3 abatataka bo luganda, abatatabagana, abawaayirirya, abateegendereza, abakambwe, abatataka obusa,
|
||
\v 4 ab'enkwe, abakakanyali, abeegulumizia, abataka eisanyu okusinga katonda;
|
||
\v 5 nga balina ekifaananyi ky'okutya katonda, naye nga beegaana amaani gaakwo: era bona obakubbanga amabega.
|
||
\v 6 Kubanga ku abo niibo bantu abasenseire mu nyumba ne banyaga abakali abasirusiru abazitoowererwa ebibbiibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,
|
||
\v 7 abeega bulijo, ne batasobola enaku gyonagyona okutuuka ku kutegeerera dala mazima.
|
||
\v 8 Era nga yane ne yambere bwe baaziyizire musa, na bano batyo baziyizia amazima; bayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kwikirirya.
|
||
\v 9 Naye tebalyeyongeraku kubitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa dala abantu bonabona, era ng'obwa badi bwe bwabbaire.
|
||
\p
|
||
\v 10 Naye iwe wasengereirye inu okwegeresya kwange, empisa gyange, okuteesia kwange, okwikirirya kwange, okugumiinkirizia kwange, okutaka kwange, okulindirira kwange,
|
||
\v 11 okuyiganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambaireku mu antiyokiya, mu ikoniyo, mu lusitula; okuyiganyizibwa kwe nayiganyizibwanga bwe kwabbaire: era mukama waisu yandokoire mu byonabyona.
|
||
\v 12 Naye era bonabona abataka mu kristo yesu okukwatanga empisa egy'okutya katonda bayiganyizibwanga.
|
||
\v 13 Naye abantu ababbiibi n'abeetulinkirirya balyeyongera okubitiriranga mu bubbiibi, nga babbeya era nga babbeyebwa.
|
||
\v 14 Naye iwe bbanga mu ebyo bye wayegere n'otegeerera dala, ng'omaite abakwegeresya bwe bali;
|
||
\v 15 era ng'okuva mu butobuto wamanyanga ebyawandiikiibwe ebitukuvu ebisobola okukugeziwalya okuyingira mu bulokozi olw'okwikirirya okuli mu kristo yesu.
|
||
\v 16 Buli ekyawandikiibwe kirina okuluŋamya kwa katonda, era kigasa olw'okwegeresyanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;
|
||
\v 17 omuntu wa katonda alekenga okubulwa kyonakyona, ng'alina ddala byonabyona olwa buli mulimu omusa.
|
||
\c 4
|
||
\cl Ensuula 4
|
||
\p
|
||
\v 1 Nkukuutirira mu maiso ga katonda no kristo yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okuboneka kwe n'obwakabaka bwe;
|
||
\v 2 buuliranga ekigambo; kubbiririzyanga mu ibbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikirizia kwonakwona n'okwegeresya.
|
||
\v 3 Kubanga ebiseera biriiza lwe batalikirirya kuwulira kwegeresya kwo bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋaania abegeresya ng'okwegomba kwabwe ibo bwe kuli;
|
||
\v 4 baliigala amatu okulekanga amazima, balikyama okusengereryanga enfumu obufumu.
|
||
\v 5 Naye iwe tamiirukukanga mu byonabyona, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukiriryanga okuweererya kwo.
|
||
\v 6 Kubanga nze atyanu nfukibwa, n'ebiseera eby'okulekulibwa kwange bituuse.
|
||
\v 7 Nwaine okulwana okusa, olugendo ndutuukirye, okwikirirya nkukuumire:
|
||
\v 8 ekisigaireyo, engisisiibwe engule ey'obutuukirivu mukama waisu gy'alimpeera ku lunaku ludi, asala emisango egy'ensonga: so ti niinze nzenka naye era ne bonabona abataka okuboneka kwe.
|
||
\p
|
||
\v 9 Fuba okwiza gye ndi mangu:
|
||
\v 10 kubanga dema yandekerewo, ng'ataka emirembe egya atyanu, n'ayaba e sesalonika; kulesuke e galatiya, tito e dalumatiya.
|
||
\v 11 Luka niiye eyabbaire awamu nanze yenka. Twala mako, omuleete wamu naiwe; kubanga angasa olw'okuweerezya.
|
||
\v 12 Naye tukiko namutumire mu efeso.
|
||
\v 13 Ekivaalo kye nalekere mu tulowa ewa kappo, bw'olibba ng'oiza, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, bidi eby'amadiba.
|
||
\v 14 Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankolere obubbiibi bungi: mukama waisu alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byabbaire:
|
||
\v 15 oyo weena omwekuumanga; kubanga yaziyizire inu ebigambo byaisu.
|
||
\v 16 Mu kuwozya kwange okw'oluberyeberye wabula eyanyambire, naye bonabona banjabuliire: nsaba baleke okukibalirwa.
|
||
\v 17 Naye mukama waisu yayemereire kumpi nanze, n’ampa amaani; nze kaisi ntuukirizie kye mbuulira, era ab'amawanga bonabona kaisi bawulire: ne ndokoka mu munwa gw'empologoma.
|
||
\v 18 Mukama waisu yandokolanga mu buli kikolwa ekibbiibi, era yankuumanga okutuusia ku bwakabaka bwe obw'omu igulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
|
||
\p
|
||
\v 19 Sugirya pulisika ne akula, n'ennyumba ya onesifolo.
|
||
\v 20 Erasuto yabbaire mu kolinso: naye tulofiimo namulekere mu mireeto ng'alwaire.
|
||
\v 21 Fuba okwiza ebiseera by'empewo nga nga bikaali kutuuka. Ewubulo akusugiirye, ne pudente, ne lino, ne kulawudiya, n'ab'oluganda bonabona.
|
||
\p
|
||
\v 22 Mukama waisu abbenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibbenga naimwe.
|