\id ACT \ide UTF-8 \h Ebikolwa \toc1 Ebikolwa \toc2 Ebikolwa \toc3 act \mt Ebikolwa \c 1 \cl Ensuula 1 \p \v 1 Ekitabo eky'oluberyeberye nakikolere, munnange Teefiro, ekya byonabyona Yesu bye yasookere okukola n'okwegeresya, \v 2 okutuusia ku lunaku ludi bwe yamalire okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalondere n'atwalibwa mu igulu. \v 3 Bwe yamalire okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu ibo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'ababonekera eibbanga ly'ennaku ana, ng'atumula eby'obwakabaka bwa Katonda. \p \v 4 Awo bwe yakuŋaanire nabo n'abalagira baleke okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubizia kwa Itawaisu kwe baawuliire gy'ali: \v 5 kubanga Yokaana yabatizire n'amaizi; naye imwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu naku ti nyingi \v 6 Awo bwe baakuŋaanire ne bamubuulya nga bakoba nti Mukama waisu, mu biseera bino mw'ewairiryawo obwakabaka eri Isiraeri? \v 7 N'abakoba nti Ti kwanyu okumanya entuuko waire ebiseera, Itawaisu bye yateekere mu buyinza bwe iye. \v 8 Naye muliweebwa amaani, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okwiza ku imwe, mweena mwabbanga bajulizi bange mu Yerusaalemi no mu Buyudaaya bwonabwona no mu Samaliya, n'okutuusia ku nkomerero y'ensi. \v 9 Bwe yamalire okutumula ebyo, nga bamulingilira, n'asitulibwa, ekireri ne kimutoola mu maiso gaabwe. \p \v 10 Bwe babbaire beekalirizia amaiso mu igulu bw'ayaba, bina, abantu babiri ne bayemerera kumpi nabo nga bavaire engoye egitukula; \v 11 abatumwire nti Abantu b’e Galiraaya kiki ekibemereirye nga mukingilira mu igulu? Oyo Yesu abatooleibweku okutwalibwa mu igulu aliiza atyo nga bwe mumuboine ng'ayaba mu igulu. \p \v 12 Ne baira e Yerusaalemi okuva ku lusozi olwetebwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku sabbiiti. \v 13 Awo bwe bayingiire ne baniina mu kisenge ekya waigulu, we batyamanga; Peetero no Yokaana n Yakobo no Andereya, Firipo no Tomasi, Batolomaayo no Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, no Simooni Zerote, no Yuda omwana wa Yakobo. \v 14 Abo bonabona babbaire nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakali no Malyamu Maye wa Yesu, no bagande. \p \v 15 Mu naku egyo Peetero n'ayemerera wakati mu b'oluganda n’atumula (ekibiina ky'abantu abaakuŋaana babbaire nga kikumi mu abiri) nti \v 16 Abasaiza ab'oluganda, kyagwaniire ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yatumwire eira mu munwa gwa Dawudi, ku Yuda, eyabbaire omusaale waabwe abakwateYesu; \v 17 kubanga yabaliirwe wamu naife, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno. \p \v 18 (Oyo n'agula enimiro n'empeera ey'obubbiibi bwe; n'agwa nga yeefundikire, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonabyona ne biyiika. \v 19 Ne kitegeerekeka eri abo bonabona ababbaire mu Yerusaalemi: enimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okwetebwa n'eyetebwa Akerudama, niiye enimiro ey'omusaayi.) \p \v 20 Kubanga kyawandiikibwe mu kitabo kya Zabbuli nti Ekibanja kye kizike, So kireke okubbangamu omuntu: era nti Obukulu bwe buweebwe ogondi \v 21 Kale kigwanire mu bantu ababitanga naife mu biseera byonabyona bwe yayingiranga n'avanga gye tuli Mukama waisu Yesu \v 22 okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusia ku lunaku lwe yatutooleiku, omumu ku abo abbe omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naife. \p \v 23 Ne balonda babiri, Yusufu ayetebwa Balusaba, n'atuumibwa ate eriina Yusito, ne Matiya. \v 24 Ne basaba, ne bakoba nti Iwe, Mukama waisu, amaite emyoyo gy'abantu bonabona, lagaku mumu gw'olondere ku bano bombiri, \v 25 aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasubirwe ayabe mu kifo kye iye. \v 26 Ne babakubbira obululu; akalulu ne kagwa ku Matiya; n’abalirwa wamu n'abatume eikumi n'omumu. \c 2 \cl Ensuula 2 \p \v 1 Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuukire, bonabona babbaire wamu mu kifo kimu. \v 2 Amangu ago okuwuuma ne kubba mu igulu ng'empewo ewuuma n'amaani, ne kwizulya enyumba yonayona mwe babbaire batyaime. \v 3 Ne kuboneka ku ibo enimi ngy'omusyo nga gyeyawiremu: buli lulimi ne lutyama ku muntu. \v 4 Bonabona ne baizula Omwoyo Omutukuvu, ne batanula okutumula enimi egindi, nga Omwoyo bwe yabawaire okugitumula. \p \v 5 Wabbairewo mu Yerusaalemi Abayudaaya nga batyaime, abantu abeegenderezia, abaviire mu buli igwanga ly'abantu wansi w'eigulu. \v 6 Okuwuuma okwo bwe kwabbairewo, ekibiina ne kikuŋaana ne kisamaalirira, kubanga bawuliire buli muntu nga batumula mu lulimi lw'ewaabwe, \v 7 Ne bawuniikirira bonabona, ne beewuunya, nga batumula nti bona, bano bonabona abatumula ti Bagaliraaya. \v 8 Era kiki ife buli muntu okuwulira olulimi lw'ewaisu gye twazaaliibwe? \v 9 Abapaazi n'Abameedi, n'Abeeramiti, n'abali mu Mesopotamiya, mu Buyudaaya no Kapadokiya, mu Ponto no mu Asiya, \v 10 mu Fulugiya ne mu Panfuliya, mu Misiri no mu nsi egy'e Libuwa egiriraine Kuleene, n'Abarooma abageni, Abayudaaya n'abakyufu, \v 11 Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga batumula mu nimi gyaisu eby'ekitalo bya Katonda. \v 12 Bonabona ne beewuunya ne babuusabuusa ne bakobagana nti Amakulu gaakyo kiki kino? \v 13 Naye abandi ne babasekerera ne bakoba nti Batamiire omwenge omusu. \p \v 14 Naye Peetero bwe yayemereire na badi eikumi n'omumu, n'atumulira waigulu n’abakoba nti Abasaiza Abayudaaya n'abatyama mu Yerusaalemi mwenamwena, mutegeere kino, mutegere amatu ebigambo byange. \v 15 Kubanga bano tebatamiire, nga imwe bwe mulowooza; kubanga niiyo esaawa ey'okusatu ey'emisana. \v 16 Naye bino niibyo byatumwirwe nabbi Yoweeri nti \v 17 Olulituuka mu naku egy'oluvanyuma, bw'atumula Katonda, Ndifuka ku omwoyo gwange ku balina omubiri bonabona: Abataane banyu na bawala banyu baliragula, N'abalenzi banyu balibona okwolesebwa, N'abakaire banyu baliroota ebirooto: \v 18 Niiwo awo, ne ku baidu bange n'abazaana bange mu naku gidi Ndibafukira ku Mwoyo gwange, baliragula. \q \v 19 Ndireeta eby'ekitalo mu igulu waigulu N'obubonero mu nsi wansi, Omusaayi n'omusyo n'okunyooka kw'omwoka. \q \v 20 Eisana erifuuka endikirirya, N'omwezi okubba omusaayi, Olunaku lwa Mukama Olukulu olulitenderezebwa nga kukaali kwiza. \q \v 21 Olulituuka buli alisaba eriina lya Mukama alirokoka. \p \v 22 Abasaiza Abaisiraeri, muwulire bigambo bino. Yesu Omunazaaleesi, omuntu eyabalagiibwe Katonda mu bigambo eby'amaani n'eby'amagero n'obubonero, Katonda bye yamukolyanga wakati mu imwe, nga imwe bwe mumaite; \v 23 oyo bwe yaweweibweyo nga Katonda bwe yasookere okuteesia n'okumanya, mwamutwaire ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababbiibi, ne mumwita. \v 24 Naye oyo Katonda yamuzuukizirye, bwe yasumulwire okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinzirye kumunywezia. \p \v 25 Kubanga Dawudi amutumulaku nti Naboine Mukama enaku gyonagyona mu maiso gange, Kubanga ali ku mukono gwange omuliiro, ndeke okusagaasagana. \q \v 26 Omwoyo gwange kyegwaviire gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka; Era n'omubiri gwange gwabbanga mu isuubi: \v 27 Kubanga tolindeka bulamu bwange mu Magombe, So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda. \q \v 28 Wanjengereserye amangira g'obulamu; Olingizulya eisanyu n'amaiso go. \p \v 29 Abasaiza ab'oluganda, nsobola okutumulira n'obuvumu mu maiso ganyu ebya bazeiza baisu omukulu Dawudi nti yafiire n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waisu ne atyanu. \v 30 Kale, bwe yabbaire nabbi, bwe yamanyire nga Katonda yamulayiriire ekirayiro, nti mu baizukulu b'omu ntumbu gye alitwiryaku omuntu ku ntebe ye; \v 31 bwe yaboine olubereberye, n'atumula ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekeibwe mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavundire. \p \v 32 Yesu oyo Katonda yamuzuukizirye, feena niife bajulizi. \v 33 Awo bwe yaniinisiibwe ku mukono omuliiro ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubizia kw'Omwoyo Omutukuvu eri Itaaye, afukiire kino kye muboine atyanu kye muwuliire. \v 34 Kubanga Dawudi teyaniinire mu igulu, naye yatumwire mweene nti Mukama yakobere Mukama wange nti Tyama ku mukono gwange muliiro, \v 35 Okutuusia lwe nditeeka abalabe bo okubba entebe y'ebigere byo. \p \v 36 Kale mazima bamanye enyumba yonayona eya Isiraeri nti Katonda yamufwiire Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomereire. \p \v 37 Awo bwe bawuliire ebyo emyoyo gyabwe ne gibaluma, ne bakoba Peetero n'abatume abandi nti Abasaiza ab'oluganda, twakola tutya? \p \v 38 Peetero n'abakoba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu imwe okuyingira mu liina lya Yesu Kristo okutoolebwaku ebibbiibi byanyu, mwaweebwa ekirabo niigwo Mwoyo Omutukuvu. \v 39 Kubanga okusuubizibwa kwanyu era kwa baana banyu n'abo bonabona abali ewala, bonabona abalyetebwa Mukama Katonda waisu. \v 40 Era n'abategeeza mu bigambo ebindi bingi n'ababuulirira ng'akoba nti Mulokolebwe mu mirembe gino egyakyamire. \p \v 41 Awo abaikiriirye ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwaku ku lunaku ludi abantu ng'enkumi isatu. \v 42 Ne babba nga banyiikiriranga okwegeresebwa kw'abatume, no mu kwikirirya ekimu, no mu kumenya emigaati no mu kusaba. \p \v 43 Buli muntu n'atya: eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume. \v 44-45 Eby'obugaiga byabwe n'ebintu bye babbaire nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonabona nga buli muntu bwe yabbaire yeetaaga. \v 46 Boona nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nyumba eika, ne balyanga emere n'eisanyu n'omwoyo ogubula bukuusa, \v 47 nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonabona. Mukama n'abongerangaku bulijjo abaalokokanga. \c 3 \cl Ensuula 3 \p \v 1 Awo Peetero no Yokaana ne baniina mu yeekaalu mu saawa ey'okusabiramu, esaawa ey'omwenda. \v 2 Waaliwo omuntu omuleme okuva mu kida kwa maye yabbaire asituliibwe, gwe baateekanga bulijo ku lwigi lwa yeekaalu olwayetebwanga Olusa, okusabanga efeeza abayingiranga mu yeekaalu. \p \v 3 Oyo bwe yaboine Peetero no Yokaana nga baaba okuyingira mu yeekaalu n'asaba okuweebwa efeeza. \v 4 Peetero awamu no Yokaana ne bamwekalirizia amaiso, Peetero n'akoba nti Tulingirire. \v 5 N'abawulira, ng'alowooza nti bamuwa ekintu. \v 6 Naye Peetero n'akoba nti Efeeza ne zaabu mbibula; naye kye ndina kye nkuwa: mu liina lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula. \v 7 N'amukwata ku mukono omuliiro n'amuyimusia. Amangu ago ebigere bye n'obukongovule ne bifuna amaani: \v 8 n'agolokoka mangu n'ayemerera n'atambula, n'ayingira nabo mu yeekaalu ng'atambula ng'abuuka ng'atendereza Katonda. \p \v 9 Abantu bonabona ne bamubona ng'atambula ng'atendereza Katonda, \v 10 ne bamutegeera nga niiye oyo eyatyamanga ku lwigi Olusa olwa yeekaalu okusabirizianga efeeza, ne bawuniikirira inu n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleibwe. \p \v 11 Bwe yabbaire ng'akaali yekwaite Peetero no Yokaana, ekibiina kyonakyona ne bairuka gye baali ne bakuÅ‹aanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya inu. \p \v 12 Awo Peetero bwe yaboine n'airamu ekibiina nti Abasaiza Abaisiraeri, kiki ekibeewuunyisia bino? Mutwekaliririzia ki amaiso ng'amaani gaisu ife oba kutya kwaisu Katonda niibyo ebimutambwirye oyo? \v 13 Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bazeiza baisu, yagulumizirye Omulenzi we Yesu, gwe mwawaireyo ne mumwegaanira mu maiso ga Piraato, bwe yamaliriire okumwita. \v 14 Naye imwe ne mwegaana Omutukuvu era Omutuukirivu, ne mutaka okuweebwa omwiti, \v 15 ne mwita Omukulu w'obulamu; oyo Katonda yamuzuukizirye mu bafu: niife bajulizi baakyo. \v 16 Era olw'okwikirirya eriina lye oyo gwe mubona gwe mumaite eriina lye limuwaire amaani, n'okwikirirya okuli mu oyo kumuwaire obulamu buno obutuukiriire mu maiso ganyu mwenamwena. \p \v 17 Kale atyanu, ab'oluganda, maite nga mwakolere nga temumaite, nga n'abakulu banyu. \v 18 Naye Katonda bye yabuuliire eira mu munwa gwa banabbi bonabona nga Kristo we alibonyaabonyezebwa, yabituukiriirye atyo. \v 19 Kale mwenenye, mukyuke, ebibbiibi byanyu bisangulibwe, ebiseera eby'okuwumuzibwa mu maiso ga Mukama bituukire; \v 20 yeena atume Kristo eyabaawuliirwe eira, niiye Yesu, \v 21 eyagwanyiziibwe okutwalibwa mu igulu okutuusya mu biseera eby'okulongoosezaamu Byonabyona, Katonda bye yatumuliranga mu munwa gwa banabbi be abatukuvu ababbairewo okuva ku lubereberye. \v 22 Musa yakobere nti Mukama Katonda alibemerererya nabbi aliva mu bagade banyu nga nze; oyo mumuwuliranga Byonabyona by'alibakoba. \v 23 Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nabbi oli gulizikirizibwa mu igwanga. \v 24 Niiwo awo na banabbi bonabona n'abo okuva ku Samwiri n'abo abaamwiririra, bonabona abatumulanga, babuuliranga eby'enaku gino. \v 25 Imwe muli baana ba banabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaanire na bazeiza banyu, ng'akoba Ibulayimu nti No mu izaire lyo ebika byonabyona eby'ensi mwe biriweerwa omukisa. \v 26 Okusooka gye muli Katonda, bwe yamalire okuzuukizia Omulenzi we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusia buli muntu mu bibbiibi byanyu. \c 4 \cl Ensuula 4 \p \v 1 Bwe babbaire nga batumula n'ekibiina, ne baiza gye baali bakabona n'omukulu wa yeekaalu n'Abasadukaayo, \v 2 nga banakuwaire inu kubanga bayegereserye ekibiina era baabuliire ku bwa Yesu okuzuukira mu bafu. \v 3 Ne babateekaku emikono ne babateeka mu ikomera okutuusya amakeeri: kubanga bwabbaire buwungeire. \v 4 Naye abamu bangi abaawuliire ekigambo ne baikirirya, omuwendo gw'abasaiza ne babba ng'enkumi itaanu. \p \v 5 Awo bwe bwakyeire amakeeri abakulu n'abakaire n'abawandiisi ne bakuÅ‹aanira mu Yerusaalemi: \v 6 no Ana kabona asinga obukulu, no Kayaafa no Yokaana no Alegeezanda, ne bonabona ab'ekika kya kabona asinga obukulu: \v 7 ne babateeka wakati, ne babuulya nti Maani ki oba lina ki eribakozia imwe ebyo? \p \v 8 Awo Peetero bwe yazwire Omwoyo Omutukuvu, n'abakoba nti Abakulu b'abantu n'abakaire, \v 9 bwe tubuulirizibwa atyanu olw'okukola obusa omuntu omulwaire, ekimuwonyerye; \v 10 mutegeere mwenamwena n'ekibiina kyonakyona eky'Abaisiraeri nti mu liina lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomereire imwe, Katonda gwe yazuukizirye mu bafu, ku bw'oyo ono ayemereire nga mulamu mu maiso ganyu. \p \v 11 Oyo niilyo eibbaale eryanyoomeibwe imwe abazimbi, erifuukire eikulu ery'oku nsonda. \p \v 12 So Wabula mu mugondi obulokozi, kubanga wabula na liina liindi wansi w'eigulu eryaweweibwe abantu eritugwanira okutulokola. \p \v 13 Awo bwe baboine obugumu bwa Peetero no Yokaana, ne babategeera okubba abantu abatamaite kusoma era abatayegereseibwe inu, ni beewuunya, ne babeetegerezia nga babbaire wamu no Yesu. \v 14 Era bwe baboine omuntu eyawonyezeibwe ng'ayemereire nabo, tebabbaire nekyo kwiramu. \p \v 15 Naye ne balagira bave mu lukiiko, ne basala amagezi bonka nga bakoba nti \v 16 Twakola tutya abantu bano? Kubanga bakolere akabonero akayatiikiriire, ekigambo ekyo kimanyiibwe abantu bonabona abatyama mu Yerusaalemi, so tetusobola kukyegaana. \v 17 Naye kireke okwongeranga okubuna mu bantu, tubakange balekenga okutumula mu liina eryo n'omuntu yenayena. \v 18 Ne babeeta ne babalagira balekenga okutumula n'akatono waire okwegeresyanga mu liina lya Yesu. \p \v 19 Naye Peetero no Yokaana ne bairamu ne babakoba nti Oba nga kisa mu maiso ga Katonda okuwulira imwe okusinga Katonda, mutumule; \v 20 kubanga ife tetusobola kuleka kutumulanga bye twaboine bye twawuliire. \p \v 21 Boona, oluvanyuma lw'okutumula okubakanga, babalekwire, nga tebabona kye babalanga okubabonerezia, olw'ekibiina; kubanga bonabona babbaire batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleibwe. \v 22 Kubanga obukulu bwe yabbaire amalire mu myaka ana omuntu eyakoleirwe akabonero kano ak'okuwonyezebwa. \p \v 23 Bwe balekwibwe ne baaba mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonabyona bye bakobeibwe bakabona abakulu n'abakaire. \v 24 Boona bwe baawuliire ne bayimusia eidoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bakoba nti Mukama, niiwe eyakolere eigulu n'ensi n'enyanza n'ebirimu byonabyona, \v 25 niiwe eyatumwire ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu munwa gwa zeiza Dawudi mulenzi wo nti Ab'amawanga kiki ekibeesalizia akajegere, N'ebika birowoozerye ebibulamu? \q \v 26 Bakabaka b'ensi baasimba enyiriri, N'abakulu baakuÅ‹aanira wamu Ku Mukama no ku Kristo we: \v 27 Kubanga mazima baakuÅ‹aanira mu kibuga muno ku Mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukireku amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri, \v 28 bakole byonabyona omukono gwo n'okuteesia kwo bye byalagiire eira okubaawo. \p \v 29 Kale atyanu, Mukama, bona okukanga kwabwe, owe abaidu bo bagume inu okutumulanga ekigambo kyo, \v 30 bw'ogolola omukono gwo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu liia lya Mulenzi wo omutukuvu Yesu. \p \v 31 Bwe baamalire okusaba, mu kifo we baakuÅ‹aaniire ne wakankana; bonabona ne baizula Omwoyo Omutukuvu, ne batumula ekigambo kya Katonda n'obuvumu. \p \v 32 N'ekibiina kyabwe abaikiriirye babbaire n'omwoyo gumu n'emeeme imu; so wabula n'omumu eyatumulanga nti ekintu ky'alinakyo kikye yenka, naye byonabyona baabbanga nabyo mu bumu. \v 33 N'amaani mangi abatume ne batumulanga okutegeezia kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waisu Yesu. N'ekisa kingi ne kibbanga ku ibo bonabona. \v 34 Kubanga wabula mu ibo eyeetaaganga; kubanga bonabona ababbaire n'ensuku oba enyumba bagitundanga ne baleeta omuwendo gwagyo egyatundibwanga, \v 35 ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga. \p \v 36 No Yusufu abatume gwe bayeta Balunabba (okutegeezebwa kwalyo nti) Mwana w'eisanyu Omuleevi, eyazaaliirwe e Kupulo, \v 37 yabbaire n'enimiro, n'agitunda n'aleeta efeeza n'agiteeka kubigereby'abatume. \c 5 \cl Ensuula 5 \p \v 1 Naye omuntu eriina lye Ananiya ne Safira mukali we n'atunda ebibye, \v 2 ne yeegisiraku ku muwendo, mukali we naye ng'amaite, n'aleetaku kitundu butundu n'ateeka ku bigere by'abatume. \p \v 3 Naye Peetero n'amukoba nti Ananiya, Setaani akwijuliziirye ki omwoyo gwo okubbeya Omwoyo Omutukuvu, ne weegisiraku ku muwendo gw'enimiro? \v 4 Bwe yabbaire eyiyo, teyali yiyo? Era bwe yamalire okutundibwa, teyabbaire mu buyinza bwo? Kiki ekikuteekeserye mu mwoyo okukola oti? Tobbeyere bantu, naye Katonda. \v 5 Ananiya bwe yawuliire ebigambo ebyo, n'agwa n'atondoka. Entiisia nyingi n'ekwata bonabona abaawuliire ebyo. \v 6 Abalenzi ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika. \p \v 7 Awo olwatuukire wabbaire wabitirewo esaawa isatu omukali we yeena n'ayingira nga tamaite bwe bibbaire. \v 8 Peetero n'amwiramu nti Nkobera, mwatundire enimiro omuwendo gutyo? N'akoba nti Niiwo awo, gutyo. \v 9 Naye Peetero n'amukoba nti Kiki ekibatabaganyizirye okukema Omwoyo gwa Mukama? Bona, ebigere byabwe abaziikire ibaawo biri ku lwigi, bakutwala weena. \v 10 Amangu ago n'agwa ku bigere bye, n'atondoka: abalenzi bwe baayingiire ne bamusanga ng'afiire, ne bamutwala ne bamuziika wamu no ibaaye. \p \v 11 Entiisia nene n'ekwata ekkanisa yonayona ne bonna abaawuliire ebyo. \p \v 12 Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga n'emikono gy'abatume mu bantu; bonabona babbaire mu kisasi kya Sulemaani n'omwoyo gumu. \v 13 So n'abandi tewabbaire n'omumu eyayaÅ‹angire okwegaita nabo; naye abantu ne bagulumizia ga; \v 14 abaikiriza ne beeyongeranga okwegaita no Mukama waisu, bangi abasaiza n'abakali; \v 15 n'okuleeta ne baleetanga mu magira abalwaire ne babateekanga ku mikeeka no ku bitanda, Peetero bw'eyaiza ekiwolyo kye kituuke ku bamu. \v 16 Era ebibiina ne bikuÅ‹aananga nga biva mu bibuga ebiriraine Yerusaalemi, nga baleeta abalwaire n'ababbaire babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonabona. \p \v 17 Naye n'ayimuka kabona asinga obukulu ne bonabona ababbaire naye (kye kitundu eky'Abasadukaayo), ne baizula eiyali, \v 18 ne bakwata abatume ne babateeka mu ikomera ly'abantu bonabona. \v 19 Naye malayika wa Mukama obwire n'aigulawo engigi egy'eikomera, n'abafulumya, n'akoba nti \v 20 Mwabe, mwemerere, mubuulire mu yeekaalu abantu ebigambo byonabyona eby'obulamu buno. \v 21 Bwe baawuliire ne bayingira mu yeekaalu mu matulutulu, ne begeresya. Naye kabona asinga obukulu n'aiza n'ababbaire naye, n'ayeta olukiiko n'abakaire bonabona ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu ikomera okubaleeta. \v 22 Naye abaami abayabire tebaabasangire mu ikomera, ne baira, ne batumula \v 23 nga bakoba nti Eikomera tusangire nga lisibiibwe kusa dala n'abakuumi nga bayemereire ku njigi; naye bwe twigairewo, tetusangiremu muntu. \v 24 Bwe baawuliire ebigambo ebyo omukulu wa yeekaalu na bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kyaizire okubuna. \p \v 25 Omuntu n'aiza n'ababuulira nti Bona, abantu badi be mwateekere mu ikomera bali mu yeekaalu bemereire nga begeresya abantu. \v 26 Awo omukulu n'abaami ne baaba ne babaleeta, sti lwa maani, kubanga babbaire batya abantu baleke okubakubba amabbaale. \p \v 27 Ne babaleeta ne babateeka mu maiso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuulya \v 28 ng'akoba nti Okulagira twabalagira obutayegeresianga mu liina eryo: era, bona, mwizwire Yerusaalemi okwegeresya kwanyu, ne mutaka okuleeta ku ife omusaayi gw'omuntu oyo. \v 29 Naye Peetero n'abatume ne bairamu ne bakoba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu. \v 30 Katonda wa bazeiza baisu yazuukizirye Yesu gwe mwaitire imwe bwe mwamuwanikire ku musaale. \v 31 Oyo Katonda yamuninisirye ku mukono gwe omulyo okubba omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okutoolebwaku ebibbiibi: \v 32 feena niife bajulizi b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawaire abamugondera. \p \v 33 Naye ibo bwe baawuliire ne balumwa inu, ne bataka okubaita. \p \v 34 Naye omuntu n'ayemerera mu lukiiko, Omufalisaayo, eriina lye Gamalyeri, omwegeresya w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonabona, n'alagira baize abasaiza ewanza akaseera: \v 35 n'abakoba nti Abasaiza Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mwaba okubakolaku. \v 36 Kubanga eira mu biseera ebyabitire Syuda yagolokokere ng'akoba nti niiye muntu omukulu, abantu nga bina ne beegaita naye: n'aitibwa, bonabona abaamuwuliire ne basaansaana, emirerembe ne gikoma. \v 37 Oluvannyuma lwe n'agolokoka Yuda Omugaliraaya mu naku egy'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumusengererya: n'oyo n'agota, bonabona abaamuwuliire ne basaansaana. \v 38 Ne atyanu mbakoba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesia kuno n'omulimu guno oba nga biviire mu bantu, birizikirira; \v 39 naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikirirya; muleke okuboneka ng'abalwana no Katonda. \v 40 Ne bamuwulira: ne beeta abatume, ne babakubba, ne balagira obutatumulanga mu liina lya Yesu, ne babalekula. \p \v 41 Awo ne bava mu maiso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyiziibwe okukwatibwa ensoni olw'Eriina. \v 42 Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nyumba eika tebaayosianga kwegeresyanga n'okubuuliranga Yesu nga niiye Kristo. \c 6 \cl Ensuula 6 \p \v 1 Awo mu naku egyo, abayigirizwa bwe beeyongeire obungi, ne wabbaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga banamwandu baabwe baabafisianga mu kuweereza okwa buliijo. \p \v 2 Eikumi n'ababiri ne beeta ekibiina ky'abayigirizwa, ne babakoba nti Tekiwooma ife okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku meeza. \v 3 Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mwe abasiimibwa musanvu, abaizwire Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be twateeka ku mulimu guno; \v 4 naye ife twanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo. \p \v 5 Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maiso g'ekibiina kyonakyona; ne balonda Suteefano, omuntu eyaizwire okwikirirya n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya; \v 6 ne babateeka mu maiso g'abatume; ne basaba, ne babateekaku emikono. \p \v 7 Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongeraku inu; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okwikirirya. \p \v 8 Suteefano bwe yaizwire ekisa n'amaani n'akolanga amagero n'obubonero obunene mu bantu. \v 9 Naye ne bayimuka abantu abamu ab'eikuÅ‹aaniro eryetebwa ery'Abalibettino, n'ery'Abakuleene n'ery'Abalegezanderiya n'ery'Abakirukiya n'ery'Abasiya, nga bawakana ne Suteefano: \v 10 so tebasoboire kusobola magezi n'Omwoyo bye yatumwirye. \p \v 11 Awo ne baweerera abantu abakoba nti Twawuliire oyo ng'atumula ebigambo eby'okuvuma Musa no Katonda. \v 12 Ne bakubbirizia abantu, n'abakaire n'abawandiisi, ne baiza gy'ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko, \v 13 ne bemererya abajulizi ab'obubbeyi abakobere nti Omuntu oyo taleka kutumula bigambo ku kifo kino ekitukuvu n'amateeka: \v 14 kubanga twamuwuliire ng'akoba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikirizia ekifo kino, aliwaanyisia n'empisa gye twaweweibwe Musa. \p \v 15 Bwe baamwekalirizirye amaiso, bonabona ababbaire batyaime mu lukiiko ne bamubona amaiso ge nga gafaanana ng'aga malayika. \c 7 \cl Ensuula 7 \p \v 1 Kabona asinga obukulu n'atumula nti Ebyo bwe biri bityo? \p \v 2 Suteefano n'akoba nti Abasaiza ab'oluganda era basebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yabonekeire zeiza waisu Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga akaali kubba Kalani, \v 3 n'amukoba nti Va mu nsi yanyi no mu kika kyo, oyabe mu nsi gye ndikulaga. \p \v 4 Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abba mu Kalani: oluvanyuma itaaye bwe yamalire okufa, n'amutoolayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutyaime imwe atyanu; \v 5 so teyamuwaire butaka muno waire awaninibwa ekigere: n'asuubizia okugimuwa okugitoola, iye n'eizaire lye oluvanyuma lwe, nga kaali nokumuwa mwana. \v 6 Katonda n'atumulira wakati ati ng'eizaire lye baliba bagenyi mu nsi y'abandi; balibafuula abaidu, balibakolera Obubbiibi emyaka bina. \v 7 N'eigwanga eriribafuula abaidu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yatumwire Katonda: n'oluvanyuma balivaayo balinsinzizia mu kifo kino. \v 8 N'amuwa endagaanu ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bazeiza abakulu eikumi n'ababiri. \p \v 9 Bazeiza abakulu bwe baakwatiirwe Yusufu eiyali ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abbanga naye, \v 10 n'amulokola mu naku gye gyonagyona, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maiso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri no mu nyumba ye yonayona. \p \v 11 Enjala n'egwa ku nsi yonayona ey'e Misiri n'eya Kanani, n'enaku nyingi, so ne batabona mere bazeiza baisu. \v 12 Naye Yakobo bwe yawuliire ng'emere enkalu eri Misiri, n'atuma bazeiza baisu omulundi ogw'oluberyeberye: \v 13 n'omulundi ogw'okubiri Yusufu bagande ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo. \v 14 Yusufu n'atuma n'ayeta Yakobo Itaaye na bagande bonabona, abantu nsanvu na bataanu. \v 15 Yakobo n'aikirira e Misiri, n'afiirayo, iye na bazeiza baisu; \v 16 ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagulire omuwendo gw'efeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu. \p \v 17 Naye Ng'ebiseera eby'okusuubizia bwe byabbaire okumpi, Katonda kwe yayatuliire Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri, \v 18 okutuusia kabaka ogondi lwe yabbairewo ku Misiri ataamanyire Yusufu. \v 19 Oyo bwe yasaliire amagezi eigwanga lyaisu, n'akola Obubbiibi bazeiza baisu, ng'abasuuzianga abaana baabwe abawere baleke okubba abalamu. \p \v 20 Mu biseera ebyo Musa n'azaalibwa, n'abba musa eri Katonda, ne bamuliisirya emyezi isatu mu nyumba ya itaaye. \v 21 Bwe yasuuliibwe, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we. \v 22 Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonagona ag'e Misiri; n'abba wa maani mu bigambo bye no mu bikolwa bye. \p \v 23 Naye obukulu bwe yabbaire ali kumpi okutuusia emyaka ana, n'alowooza mu mwoyo gwe okubona bagande, abaana ba Isiraeri. \v 24 Bwe yaboine omuntu akolwa Obubbiibi, n'amutaasia, n'amuwoolera eigwanga omuntu eyabbaire akolwa Obubbiibi, n'akubba Omumisiri. \v 25 N'alowooza nti baganda be bategeera nga Katonda ayaba okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeire. \v 26 Ate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'ageziaku okubatabaganya, ng'akoba nti Abasaiza, imwe muli bo luganda: kiki ekibakozia Obubbiibi mwenka na mwenka? \p \v 27 Naye odi eyabbaire akola mwinaye Obubbiibi n'amusindika edi, ng'akoba nti Yani eyakufiire iwe omukulu n'omulamuzi waisu? \v 28 Otaka kungita nze nga bwe waitire Omumisiri eizo? \v 29 Musa n'airuka olw'ekigambo ekyo, n'abba mugeni mu nsi ya Midiyaani, gye yazaaliire abaana babiri ab'obulenzi. \p \v 30 Awo emyaka ana bwe gyatuukire, malayika wa Mukama n'amubonekera mu nimi gy'omusyo nga gwaka mu kisaka, bwe yabbaire mu idungu ku lusozi Sinaayi. \v 31 Musa bwe yaboine ne yeewuunya ky'aboine. Bwe yasembeire okwetegerezia, ne wabbaawo eidoboozi lya Mukama nti \v 32 Niinze Katonda wa bazeiza bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyagumire kulingirira. \p \v 33 Mukama n'amukoba nti Sumulula engaito egiri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyemereire watukuvu. \v 34 Okkubona mboine okukolwa Obubbiibi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne njika okubawonya. Kale atyanu iza, nakutuma mu Misiri. \p \v 35 Oyo Musa gwe baagaine nga bakoba nti Yani eyakufiire omukulu era omulamuzi? Oyo Katonda gwe yatumire okubba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamubonekeire mu kisaka. \v 36 Oyo n'abaggyawo bwe yamalire okukola amagero n'obubonero mu Misiri, no mu Nyanza Emyufu, ne mu idungu emyaka ana. \p \v 37 Oyo niiye Musa odi eyakobere abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nabbi aliva mu bagande banyu nga nze. \v 38 Oyo niiye yabbaire mu kanisa mu idungu, wamu no malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu na bazeiza baisu; eyaweweibwe ebigambo eby'obulamu okutuwa ife: \v 39 bazeiza baisu gwe batatakire kuwulira, naye baamusindiike edi, ne bairayo e Misiri mu myoyo gyabwe, \v 40 nga bakoba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitutangira: kubanga Musa oyo, eyatutoire mu nsi y'e Misiri, tetumaite ky'abbaire. \v 41 Ne bakola enyana mu naku gidi, ekifaananyi ne bakireetera sadaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe. \v 42 Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eigye ery'omu igulu; nga bwe kyawandiikiibwe mu kitabo kya banabbi nti Mwampeeranga nze ensolo egyaitibwanga ne sadaaka Emyaka ana mu idungu, enyumba ya Isiraeri? \q \v 43 Ne musitula eweema ya Moloki, N'emunyenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakolere okubisinzanga: Nzeena ndibatwala enyuma w’e Babbulooni. \p \v 44 N'eweema ey'obujulirwa yabbaire na bazeiza baisu mu idungu, nga bwe yalagiire eyakobere Musa okugikola ng'engeri gye yaboine bwe yabbaire: \v 45 bazeiza bwe bagiweweibwe ne bagireeta wamu no Yoswa bwe baliire amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maiso ga bazeiza baisu okutuusya mu naku gya Dawudi; \v 46 eyasiimiibwe mu maiso ga Katonda, n'asaba okumusagirira aw'okutyamisya Katonda wa Yakobo. \v 47 Naye Sulemaani n'amuzimbira enyumba. \p \v 48 Naye Ali waigulu einu tatyama mu nyumba egyakoleibwe n'emikono; nga nabbi bw'atumula nti \v 49 Eigulu niiyo entebe yange, N'ensi niiyo entebe y'ebigere byange: Nyumba ki gye mulinzimbira? Bw'atumula Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwumulira? \q \v 50 Omukono gwange ti niigwo gwabikolere ebyo byonabyona? \p \v 51 Imwe abalina eikoti eikakanyavu, abatakomolebwa mu myoyo no mu matu, imwe muziyizia buliijo Omwoyo Omutukuvu; nga bazeiza banyu, Mweena mutyo. \v 52 Nabbi ki gwe bataayigganyirye bazeiza banyu? Baitanga abaasookere okubuulira ebigambo eby'okwiza kwe Omutuukirivu, gwe mumalire okuwaayo atyanu okumwita; \v 53 imwe abaaweweibwe amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwaite. \p \v 54 Awo bwe baawuliire ebyo ne balumwa mu myoyo gyabwe, ne bamulumira ensaya. \p \v 55 Naye bwe yaizwire Omwoyo Omutukuvu, n'akalirizia amaiso mu igulu, n'abona ekitiibwa kya Katonda, no Yesu ng'ayemereire ku mukono omuliiro ogwa Katonda; \v 56 n'akoba nti bona, ningiriire eigulu nga libikukire n'Omwana w'Omuntu ng'ayemereire ku mukono omuliiro ogwa Katonda. \p \v 57 Ne baleekaana N'eidoboozi inene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwaku n'omwoyo gumu, \v 58 ne bamusindiikirirya ewanza w'ekibuga, ne bamukubba amabbaale. Abajulizi ne bateeka engoye gyabwe ku bigere by'omulenzi, eriina lye Sawulo. \p \v 59 Ne bakubba amabbaale Suteefano bwe yasabiire n'akoba nti Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange. \p \v 60 N'afukamira n'akunga n'eidoboozi inene nti Mukama wange, tobabalira kibbiibi kino. Bwe yamalire okutumula ebyo n'agona. \c 8 \cl Ensuula 8 \p \v 1 No Sawulo yasiimire okwitibwa kwe. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kanisa eyabbaire mu Yerusaalemi. Bonabona ne basaansaanira mu nsi gy'e Buyudaaya n'e Samaliya, wabula abatume. \v 2 Abantu abaatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukungira inu. \v 3 Naye Sawulo n'akolera ekanisa ekyeju kingi, ng'ayingira mu buli nyumba, ng'awalula abasaiza n'abakali n'abateeka mu ikomera. \p \v 4 Awo abo abaasaansaanire ne baaba nga babuulira ekigambo. \v 5 Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo. \v 6 Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'aytumwire, bwe baawuliire ne babona eby'amagero ge yakolanga. \v 7 Kubanga bangi ku ibo ababbaireku dayimooni, ne babavangaku nga bakunga n'eidoboozi inene: ne bawonanga bangi ababbaire balwaire okukoozimba n'abaleme. \v 8 Eisanyu lingi ne libba mu kibuga omwo. \p \v 9 Naye waaliwo omuntu omumu, eriina lye Simooni, eyakolanga eirogo eira mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eigwanga ly'e Samaliya, ng'akoba nti niiye mukulu; \v 10 ne bamuwuliranga bonabona okuva ku mutomuto okutuuka ku mukulu, nga bakoba nti Omuntu ono niigo amaanyi ga Katonda ageetebwa Amangi. \v 11 Ne bamuwuliranga, kubanga enaku nyingi yabawuniinkirizianga n'okuloga kwe. \v 12 Naye bwe baikirirye Firipo ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasaiza n'abakali. \v 13 Era ne Simooni mwene n'aikirirya: bwe yamalire okubatizibwa n'abbanga wamu no Firipo; bwe yabonanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya. \p \v 14 Awo abatume ababbaire mu Yerusaalemi bwe baawuliire nga e Samaliya baikirirye ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero no Yokaana. \v 15 Boona bwe batuukire ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu: \v 16 kubanga yabbaire akaali okubaikaku n'omumu ku ibo: naye baabatizibwe bubatizibwi okuyingira mu liina lya Mukama waisu Yesu. \v 17 Awo ne babateekaku emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu. \p \v 18 Naye Simooni bwe yaboine ng'olw'okuteekebwaku emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera feeza \v 19 ng'akoba nti Mumpe nzeena obuyinza buno buli gwe nateekangaku emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu. \p \v 20 Naye Peetero n'amukoba nti Efeeza yo ezikirire naiwe, kubanga olowoozerye okufuna ekirabo kya Katonda n'ebintu. \v 21 Obula mugabo waire okugabana mu kigambo kino: kubanga omwoyo gwo ti mugolokofu mu maiso ga Katonda. \v 22 Kale weenenye obubbiibi bwo obwo, osabe Mukama waisu, koizi olisonyiyibwa ekirowoozo eky'omu eky'omu mwoyo gwo. \v 23 Kubanga nkubona oli mu mususa ogukaawa no mu nvuba y'obubbiibi. \p \v 24 Simooni n'airamu n'akoba nti Munsabire imwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mutumwire bireke okumbaaku n'ekimu. \p \v 25 Awo bwe bamalire okutegeezia n'okubuulira ekigambo kya Mukama waisu, ne bairayo e Yerusaalemi, ne babuulira enjiri mu mbuga nyingi egy'Abasamaliya. \p \v 26 Naye malayika wa Mukama n'akoba Firipo ng'atumula nti Golokoka, oyabe obukiika obw'omuliiro okutuuka mu ngira eserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Gaaza: engira eyo ye idungu. \v 27 N'agolokoka n'ayaba: kale, bona, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka Omukali ow'Abaesiyopya, eyabbaire omuwanika w'ebintu bye byonabyona, yabbaire aizire e Yerusaalemi okusinza, \v 28 yabbaire airayo n'atyama mu gaali ye, n'asoma nabbi Isaaya. \p \v 29 Omwoyo n'akoba Firipo nti Sembera, weegaite n'egaali eyo. \p \v 30 N'airuka Firipo n'amuwulira ng'asoma nabbi Isaaya, n'akoba nti Obitegeire by'osoma? \p \v 31 N'akoba nti Nsobola ntya, wabula nga waliwo eyandagirira? Ne yeegayirira Firipo aniine atyame naye. \p \v 32 Mu kifo awaawandiikiibwe we yabbaire asoma niiwo awakoba nti Yatwalibwe okwitibwa ng'entama, Era ng'omwana gw'entama mu maiso g'omusali w'ebyoya bwe gusirika, Kityo teyayasamirye omunwa gwe: \v 33 Mu kwetoowazia kwe omusango gwe gwatooleibwewo: Ekika kye yani alikinyonnyola? Kubanga obulamu bwe butolebwa mu nsi. \p \v 34 Omulaawe n'airamu Firipo n'akoba nti Nkwegayirire, nabbi yatumwire ku yani ebigambo bino? Bibye yenka oba byo muntu gondi? \v 35 Firipo n'ayasama amunwa gwe n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu. \p \v 36 Awo bwe babbaire batambula mu ngira ne batuuka awali amaizi; omulaawe n'akoba nti Bona, amaizi; kiki ekindobera okubatizibwa? \v 37 (Firipo n'akoba nti Oba ng'oikirirya n'omwoyo gwo gwonagwona, kisa. N'airamu n'akoba nti Ngikirirya Yesu Kristo nga niiye Mwana wa Katonda.) \v 38 N'alagira egaali okwemerera: ne bakka bombiri mu maizi. Firipo n'omulaawe; n'amubatiza. \v 39 Bwe baviire mu maizi, Omwoyo gwa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'atamubona ate: kubanga yaabire ng'asanyuka. \p \v 40 Naye Firipo yabonekeire mu Azoto: bwe yabitire n'abuulira mu bibuga byonabyona okutuuka e Kayisaliya. \c 9 \cl Ensuula 9 \p \v 1 Naye Sawulo bwe yabbaire akaali Atumula ebigambo eby'okukanga n'eby'okwita abayigirizwa ba Mukama waisu, n'ayaba eri kabona asinga obukulu, \v 2 n'amusaba ebbaluwa egy'okwaaba e Damasiko, eri amakuÅ‹aaniro, bw'alibonayo abantu ab'engira, oba nga basaiza oba bakali, abasibe abaleete e Yerusaalemi. \p \v 3 Awo bwe yabbaire ng'atambula, ng'alikumpi okutuuka e Damasiko, amangu ago omusana oguva mu gulu ne gumwakira okumwetooloola, \v 4 n'agwa wansi, n'awulira eidoboozi nga limukoba nti Sawulo, Sawulo, onjiganyirya ki? \v 5 N'akoba nti Yani iwe, Mukama wange? Iye n'akoba nti Ninze Yesu, gw'oyiganya iwe: \v 6 naye golokoka oyingire mu kibuga; wakobera ebikugwaniire okukola. \v 7 Naye ababbaire batambula naye ne bemerera nga basamaalirire, kubanga baawuliire eidoboozi naye ne batabona muntu. \v 8 Sawulo n'agolokoka wansi, amaiso ge bwe gaazibukire, n'atabona kintu: ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Damasiko. \v 9 N'amala enaku isatu nga tabona, era nga talya, waire nga tanywa. \p \v 10 Yabbaireyo omuyigirizwa mu Damasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waisu n'amukoba mu kwolesebwa nti Ananiya. N'amukoba nti Bona, nze nzuuno, Mukama wange. \p \v 11 Mukama waisu n'amukoba nti Golokoka oyabe mu ngira eyetebwa Engolokofu, obuulirizie mu nyumba ya Yuda omuntu eriina lye Sawulo ow'e Taluso; kubanga, bona, asaba; \v 12 era aboine omuntu, eriina lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amuteekaku emikono azibule. \p \v 13 Naye Ananiya n'airamu nti Mukama wange, omuntu oyo nawuliire ebigambo bye mu bangi, obubbiibi bwe yakolanga abatukuvu be abali e Yerusaalemi bwe buli obungi: \v 14 ne wano alina obuyinza obuva eri bakabona abakulu okubasiba bonabona abakusaba eriina lyo. \p \v 15 Naye Mukama waisu n'amukoba nti Yaba; kubanga oyo niikyo ekibya ekironde gye ndi okutwalanga eriina lyange mu maiso g'amawanga na bakabaka n'abaana ba Isiraeri. \v 16 Kubanga ndimulaga ebigambo bwe biri ebingi ebimugwaniire okubonyaabonyezebwa olw'eriina lyange. \p \v 17 Ananiya n'ayaba n'ayingira mu nyumba, bwe yamutekereku emikono n'atumula nti Ow'oluganda Sawulo, Mukama waisu antumire, Yesu eyakubonekeire mu ngira gye wafulumiremu, ozibule, oizulibwe Omwoyo Omutukuvu. \v 18 Amangu ago ku maiso ge ne kuba ng'okuviireku amagamba, n'azibula, n'ayemerera n'abatizibwa: \v 19 bwe yatoire emere n'afuna amaani. N'abba n'abayigirizwa ababbaire mu Damasiko enaku nyingiku. \p \v 20 Amangu ago n'abuulira Yesu mu makuÅ‹Å‹aaniro ng'oyo niiye Omwana wa Katonda. \v 21 Bonabona abaamuwuliire ne beewuunya ne bakoba nti Ti niye ono eyanyaganga mu Yerusaalemi abaasabanga eriina eryo? Niikyo ekyamuleetere ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu. \v 22 Naye Sawulo ne yeeyongeranga okubba n'amaani n'akwatisianga ensoni Abayudaaya ababbaire batyama e Damasiko, ng'ategeerezia dala nti oyo niiye Kristo. \p \v 23 Awo bwe wabitirewo enaku nyingi, Abayudaaya ne bateesia okumwita. \v 24 Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'obwire okumwita. \v 25 Naye abayigirizwa be ne bamutwala obwire ku kisenge, ne bamwikiriria mu kiibo. \p \v 26 Bwe yatuukiire e Yerusaalemi n'ageziaku okwegaita n'abayigirizwa: ne bamutya bonabona, nga bakaali kwikiriya nga naye muyigirizwa. \v 27 Naye Balunaba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abanyonyola bwe yaboine Mukama waisu mu ngira, era nti yatumwire naye, ne bwe yabuuliire n'obugumu mu Damasiko mu liina lya Yesu. \v 28 N'abbanga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi, \v 29 ng'abuuliranga n'obugumu mu liina lya Mukama waisu: n'atumula n'awakananga n'Abakerenisiti: naye ne bageziaku okumwita. \v 30 Ab'oluganda bwe baategeire ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso. \p \v 31 Awo ekanisa eyabbaire mu Buyudaaya bwonabwona no mu Galiraaya no mu Samaliya n'ebba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waisu no mu isanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera. \p \v 32 Awo olwatuukire Peetero bwe yabbaire ng'abita wonawona, n'aserengeta eri abatukuvu ababbaire batyama mu Luda: \v 33 n'asangayo omusaiza eriina lye Ayineya eyabbaire yaakamala ku kitanda emyaka munaana, olw'endwaire y'okukoozimba. \v 34 Peetero n'amukoba nti Ayineya, Yesu Kristo akuwonya: yemerera, weeyalire. Amangu ago n'ayemerera. \v 35 Bonabona ababbaire batyama mu Luda ne mu Saloni ne bamubona ne bakyukira Mukama waisu. \p \v 36 Awo wabbairewo mu Yopa omukali omuyigirizwa, eriina lye Tabbiisa (okutegeezebwa kwalyo ayetebwa Doluka): omukali oyo yabbaire aizwire ebikolwa ebisa n’abintu bye yagabanga. \v 37 Olwatuukire mu naku egyo n'alwala n'afa: bwe baamalire okumunaabya ne bamuteeka mu kisenge ekya waigulu. \p \v 38 Era kubanga Luda kyabbaire kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawuliire nga Peetero aliyo, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti Tolwa, tuukirira gye tuli. \v 39 Peetero n'agolokoka n'ayaba nabo. Bwe yatuukiire ne bamutwala mu kisenge ekya waigulu: na banamwandu bonabona ne beemerera kumpi naye, nga bakunga nga boolesia ebizibawo n'ebivaalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo. \v 40 Naye Peetero n'abafulumya bonabona n'afukamira n’asaba; n'akyukira omulambo n'akoba nti Tabbiisa, yemerera. N'azibula amaiso ge; awo bwe yaboine Peetero, n'agolokoka n'atyama. \v 41 N'amuwa omukono n'amuyimusia; awo bwe yamalire okweta abatukuvu ne banamwandu, n'amuleeta, nga mulamu. \v 42 Ne kitegeerwa mu Yopa kyonakyona; bangi ne baikirirya Mukama waisu. \v 43 Awo olwatuukire n'alwayo enaku nyingi mu Yopa mu nyumba ya Simooni omuwazi w'amawu. \c 10 \cl Ensuula 10 \p \v 1 Wabbairewo omuntu mu Kayisaliya, eriina lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayetebwanga Ekitaliano, \v 2 omwegendereza, atya Katonda awamu n'enyumba ye yonayona, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda enaku gyonagyonna. \p \v 3 Oyo n'abona mu kwolesewa mu lwatu, nga mu saawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amukoba nti Koluneeriyo. \p \v 4 N'amwekaliriza amaiso n'atya n'akoba nti Kiki, Mukama wange? N'amukoba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo bininire olw'okwijukirya mu maiso ga Katonda. \v 5 Era atyanu tuma abantu e Yopa, oyeteyo omuntu Simooni, eriina lye ery'okubiri Peetero: \v 6 oyo yakyaliibwe omuntu Simooni, omuwazi w'amawu, n'enyumba ye eriraine ku nyanja. \p \v 7 Malayika eyatumwire naye bwe yayabire, yayetere abaidu be babiri ab'omu nyumba na sirikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo: \v 8 bwe yamaliriire okubategeeza ebigambo byonabyona n'abatuma e Yopa. \p \v 9 Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe babbaire nga batambula abo, nga bali kumpi okutuuka ku kibuga, Peetero n'aniina ku nyumba waigulu okusaba nga mu saawa ey'omukaaga. \v 10 N'alumwa enjala n'ataka okulya. Naye bwe babbaire nga baizula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa; \v 11 n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n'essibwa wansi: \v 12 omwali ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n’eby'ewalula eby’ensi, n’ennyonyi ez’omu bbanga. \v 13 Eddoboozi ne lijja eri ye nti Golokoka, Peetero, osale olye. \p \v 14 Naye Peetero n'agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo newakubadde ekibi. \p \v 15 Eddoboozi nate (ne lijja) gy'ali omulundi ogw'okubiri nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo. \v 16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangu ago ekintu ne kitwalibwa mu ggulu. \p \v 17 Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi, \v 18 ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero, yakyazibwa omwo. \p \v 19 Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti Laba, abantu basatu bakunoonya. \v 20 Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye. \p \v 21 Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese? \p \v 22 Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe. \v 23 Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olw'okubiri Peetero n’agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye. \p \v 24 Awo ku lunaku olw'okubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo. \v 25 Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira Koluneeriyo n'amusisinkana, n'amufukaamirira ku bigere n’asinza. \v 26 Naye Peetero n'amuyimusa ng'agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu. \p \v 27 Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye, \v 28 n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi. \v 29 Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza? \p \v 30 Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa, \v 31 n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda. \v 32 Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja. \v 33 Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama. \p \v 34 Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: \v 35 naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza. \v 36 Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo (ye Mukama w'ebintu byonna)- \v 37 mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana, \v 38 Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye. \p \v 39 Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti. \v 40 Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olw'okusatu n'amulaga mu lwatu, \v 41 si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu. \v 42 N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango gw'abalamu n'abafu. \v 43 Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye. \p \v 44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo. \v 45 Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa. \v 46 Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti \v 47 Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe? \v 48 N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamwegayirira okumalayo ennaku nnyingiko. \c 11 \cl Ensuula 11 \p \v 1 Abatume n'ab'oluganda ababbaire mu Buyudaaya ne bawulira ng'abamawanga boona baikirirye ekigambo kya Katonda. \v 2 Awo Peetero bwe yayambukire e Yerusaalemi, badi abakomole ne bawakana naye \v 3 nga bakoba nti Wayabire mu bantu abatali bakomole n'olya nabo. \p \v 4 Naye Peetero n'atandika n'abanyonyola kimu Ku kimu ng'akoba nti \v 5 Nze nabbaire mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne mbona mu kwolesebwa ekintu nga kiika ng'eisuuka einene, nga kikwatiibwe ku birenge ebina okwisibwa nga kiva mu igulu, ne kingizira: \v 6 bwe neekalirizirye amaiso ne ndowooza ne mbona ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekuusa n'enyonyi egy'omu ibbanga. \v 7 Era ne mpulira eidoboozi nga linkoba nti Peetero, yemerera osale olye \v 8 Naye nenkoba nti Bbe, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo waire ekibbiibi tekiyingiranga mu munwa gwange n'akatono. \p \v 9 Naye eidoboozi ne lingiramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu igulu nti Katonda bye yalongooserye tobifuulanga iwe eby'omuzizo. \v 10 Ne kibba kityo emirundi isatu; byonabyona ne biniisibwa ate mu igulu. \p \v 11 Kale, bona, amangu ago abantu basatu babbaire nga bayemereire mu maiso g'enyumba mwe twabbaire, abaatumiibwe gye ndi okuva e Kayisaliya. \v 12 Omwoyo n'ankoba okwaba nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne baaba nanze, ne tuyingira mu nyumba y'odi; \v 13 n'atukobera bwe yaboine malayika mu nyumba ye ng'ayemereire ng'ankoba nti Tuma e Yopa oyete Simooni eriina lye ery'okubiri Peetero; \v 14 alikubuulira ebigambo ebirikulokola iwe n'enyumba yo yonayona. \v 15 Bwe nabbaire nga nakatandiika okutumula, Omwoyo Omutukuvu n'abagwaku era nga bwe yasookeire ku ife. \v 16 Ne ngijukira ekigambo kya Mukama waisu bwe yatumwire nti Yokaana yabatizire na maizi, naye imwe mulibatizibwa no Mwoyo Mutukuvu. \v 17 Kale Katonda oba nga abawaire ekirabo ekyo nga ife okwekankana, bwe twaikirirye Mukama waisu Yesu Kristo, nze nabbaire yani eyandisoboire okuziyizia Katonda? \p \v 18 Bwe bawuliire ebyo ne basirika, ne bagulumizia Katonda nga bakoba nti Kale Katonda; awaire n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu. \p \v 19 Boona abaasaansanire mu kuyiganyizibwa okwabbairewo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu gondi wabula Abayudaaya bonka. \v 20 Naye waaliwo abantu mu ibo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuukire mu Antiyokiya ibo ne batumula n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waisu Yesu. \v 21 N'omukono gwa Mukama waisu gwabbaire nabo: ekibiina kinene eky'abaikirirya ne bakyukira Mukama waisu. \p \v 22 Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekanisa eyabbaire mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya: \v 23 naye bwe yamalire okutuuka n'abona ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonabona nti Mumalirire mu mwoyo okwekwata ku Mukama waisu: \v 24 kubanga yabbaire muntu musa, n'aizula Omwoyo Omutukuvu n'okwikirirya. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waisu. \p \v 25 N'avaayo okwaba e Taluso okusagira Sawulo: \v 26 bwe yamalire okumubona n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuukire ne bamala omwaka mulamba nga bakuÅ‹aana n'ekanisa ne bayegeresya ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okwetebwa Abakristaayo mu Antiyokiya. \p \v 27 Mu nnaku egyo banabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyoklya. \v 28 N'ayemerera omumu ku ibo, eriina lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Walibba enjala nyingi mu nsi gyonagyona: yoona yabbbairewo ku mirembe gya Kulawudiyo. \v 29 Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yabbaire n'ebintu, ne bateesia okuweereza ab'oluganda ababbaire batyama e Buyudaaya: \v 30 n'okukola ne bakola batyo ne baweereza abakaire mu mukono gwa Balunabba no Sawulo. \c 12 \cl Ensuula 12 \p \v 1 Mu biseera ebyo kabaka Kerode n'agolola emikono okukola obubbiibi abamu ab'omu kanisa. \v 2 N'aita n'ekitala Yakobo mugande wa Yokaana. \v 3 Awo bwe yaboine nga Abayudaaya bakisiimire, ne yeeyongera okukwata no Peetero. Niigyo enaku egy'emigaati egitazimbulukuswa. \v 4 Bwe yamalire okumukwata, n'amuteeka mu ikomera, n'amuwaayo eri basirikale ikumi na mukaaga okumukuuma kinabana, ng'ataka okumutwala mu maiso g'abantu Okubitaku nga kuweire. \p \v 5 Awo Peetero n'akuumirwa mu ikomera: naye ab'ekanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda. \v 6 Ku lunaku Kerode lwe yabbaire ataka okumutwalayo, mu bwire ekyo Peetero yabbaire nga agonere wakati w'abasirikale babiri, ng'asibiibwe n'enjegere ibiri, abakuumi babbaire ku lwigi nga bakuuma eikomera. \v 7 Bona, malayika wa Mukama n'ayemerera w'ali, okutangaala ne kwizula ekisenge, n'akubba Peetero mu mpete n'amuzuukya ng'akoba nti Yimuka mangu. Enjegere ne giva ku mikono ne gigwa. \v 8 Malayika n'amukoba nti Weesibe, ovaale engaito gyo. N'akola atyo. N'amukoba nti Vaala ekivaalo kyo, onsengererye. \v 9 N'afuluma, n'amusengererya; so teyamanyire nga bya mazima malayika by'akolere, naye yalowooza nti aboine kwolesewa. \v 10 Bwe babitire ku bakuumi abaasookerwaku n'ab'okubiri ne batuuka ku lwigi olw'ekyoma olubitibwaku okutuuka mu kibuga: ne lubaigukirawo lwonka: ne bafuluma ne babita mu ngira imu; amangu ago malayika n'amuleka. \v 11 Peetero bwe yayiriremu n'akoba nti atyanu ntegeire mazima nga Mukama waisu atumire malayika n'antoola mu mukono gwa Kerode no mu kusuubira kwonakwona okw'eigwanga ly'Abayudaaya. \p \v 12 Bwe yalowoozere n'aiza mu nyumba ya Malyamu eyabbaire maye wa Yokaana eriina lye ery'okubiri Mako, mwe babbaire bakuÅ‹aanire abangi nga basaba. \v 13 Peetero bwe yakonkonere ku lwigi olw'omu mulyango omuzaana n'aiza okuvugira, eriina lye Looda. \v 14 Bwe yategeire eidoboozi lya Peetero n'ataigulawo lwigi olw'eisanyu, naye n'ayingira mbiro n'akoba nti Peetero ayemereire ewanza ku lwigi. \v 15 Ne bamukoba nti Olalukire. Naye n'aikalirirya nti Niiwo awo. Ne bakoba nti Niiye malayika we. \v 16 Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baigwirewo ne bamubona ne basamaalirira. \v 17 Naye bwe yabawenyere n'omukono okusirika, n'abakobera Mukama waisu bw'amutoire mu ikomera. N'akoba nti Mukobere ebyo Yakobo n'ab'oluganda. N'avaayo n'ayaba mu kifo awandi. \p \v 18 Awo bwe bwakyeire amakeeri, abasirikale ne beegugumula inu nti Peetero abbbaire ki? \v 19 Kerode bwe yamusaagire n'atamubona n'abuulirirya abakuumi n'alagira okubaita. N'ava mu Buyudaaya okwaba e Kayisaliya n'atyama eyo. \p \v 20 N'asunguwalira inu ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne baiza gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagaine no Bulasito omukulu w'omu nyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa byo mu nsi ya kabaka. \v 21 Awo ku lunaku olwalagaanyiziibwe Kerode n'avaala ebivaalo eby'obwakabaka, n'atyama ku ntebe, n'abakoba ebigambo. \v 22 Abantu bonabona ne batumulira waigulu nti Eryo idoboozi lya katonda, ti lyo muntu. \v 23 Amangu ago malayika wa Mukama n'amukubba, kubanga tawaire Katonda ekitiibwa: n'aliibwa amagino, n'afa. \p \v 24 Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga. \p \v 25 Balunabba ne Sawulo ne bairayo okuva e Yerusaalemi, bwe bamalire okutuukirirya okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana eriina lye ery'okubiri Mako. \c 13 \cl Ensuula 13 \p \v 1 Mu Antiyokiya mu kanisa eyabbareyo waaliwo banabbi n'abegeresya, Balunabba ne Simyoni eyabbaire ayetebwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonseibwe awamu no Kerode oweisaza, ne Sawulo. \v 2 Nga baweereza Mukama waisu n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'akoba nti Munondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbeteire. \v 3 Awo ne basiiba ne basaba ne babateekaku emikono ne babatuma. \p \v 4 Awo abo bwe baatumiibwe Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo. \v 5 Bwe babbaire mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuÅ‹aaniro g'Abayudaaya: ne babba no Yokaana okubaweereza. \p \v 6 Bwe babitire ku kizinga kyonakyona okutuuka e Pafo, ne babona omuntu omulogo, nabbi ow'obubbeyi, Omuyudaaya, eriina lye Balisa; \v 7 eyabbaire awamu n'oweisaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayeta Balunabba ne Sawulo, n'ataka okuwulira ekigambo kya Katonda. \v 8 Naye Eruma omulogo (kubanga eriina lye bwe livuunulwa) n'awakana nabo, ng'ataka okukyamya oweisaza mu kwikirirya. \v 9 Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yazwire Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekalirizirye amaiso, \v 10 n'akoba nti Iwe aizwire obukuusa bwonabwona n'okukola Obubbiibi kwonakwona, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonabwona, tolireka kukyamya mangira ga Mukama waisu amagolokofu? \v 11 Atyanu, bona, omukono gwa Mukama waisu guli ku iwe, wabba muduka wa maiso nga tobona isana ebiseera bingiku. Amangu ago ekifu ne kimugwaku, n'endikirirya; n'awamanta n'asagira abantu ab'okumukwata ku mukono. \v 12 Awo oweisaza bwe yaboine bwe kibbbaire n'aikirirya nga yeewuunya inu okwegeresya kwa Mukama waisu. \p \v 13 Awo Pawulo na bainaye ne bawanika amatanga okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'airayo e Yerusaalemi. \v 14 Naye ibo bwe babitire okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu ikuggaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batyama. \v 15 Bwe baamalire okusoma amateeka n'ebya banabbi, abakulu b'eikuÅ‹aaniro ne babatumira nga bakoba nti Abasaiza ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mutumule. \p \v 16 Pawulo n'ayemerera n'abawenya n'omukono n'agamba nti Abasaiza Abaisiraeri, mweena abatya Katonda, muwulire. \v 17 Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalondere bazeiza, n'agulumizya abantu bwe bamalire abageni mu nsi y'e Misiri, n'abatoolayo n'omukono ogwagulumizibwe. \v 18 N'abagumiinkiriza mu idungu emyaka ng'ana. \v 19 Bwe yazikiriirye amawanga omusanvu mu nsi ye Kanani, n'abawa ensi yaabwe okubba obutaka okutuusia emyaka bina mu ataano. \v 20 Oluvanyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nabbi Samwiri. \v 21 Oluvanyuma ne bataka kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka amakumi ana. \v 22 Bwe yamutoirewo oyo, n'abemererya Dawudi okubba kabaka waabwe, gwe yatumwireku ng'amutegeeza nti Mboine Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omwoyo gwange bwe gutaka, yakolanga bye ntaka byonabyona. \p \v 23 Oyo mu zaaire lye nga Katonda bwe yasuubizirye, aleeteire Isiraeri Omulokozi Yesu, \v 24 Yokaana bwe yasookere okubuulira ng'akaali kwiza okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonabona Abaisiraeri. \v 25 Naye Yokaana bwe yabbaire ng'alikumpi okukomya olugendo lwe, n'akoba nti Mundowooza kubba yani? Nze tindi niiye. Naye bona, waliwo aiza enyuma wange, gwe ntasaanira kusumulula ngaito yo mu kigere kye. \p \v 26 Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, mwenamwena abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezeibwe waisu. \v 27 Kubanga abatyama mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanyire oyo waire amaloboozi ga banabbi agasomebwa buli sabbiiti, kyebaaviire babituukirizia bwe baamusalira omusango. \v 28 Bwe bataboine nsonga yo kumwita, ne basaba Piraato okumwita. \v 29 Awo bwe baamalire okutuukirirya byonabyona ebyamuwandiikweku ne bamuwanula ku musaale ne bamuteeka mu ntaana. \v 30 Naye Katonda n'amuzuukizya mu bafu: \v 31 n'ababonekera enaku nyingi abaayambukire naye okuva e Galiraaya okutuuka e Yerusaalemi, niibo bajulirwa be atyanu eri abantu. \v 32 Ife tubabuulira ebigambo ebisa, eby'okusuubiza okwasuubiziibwe bazeiza nti \v 33 Katonda akutuukiriryaa eri abaana baisu bwe yazuukiziry Yesu; era nga bwe kyawandiikiibwe mu Zabbuli ey'okubiri nti Niiwe mwana wange, nkuzaire atyanu. \p \v 34 Era kubanga yamuzuukizirye mu bafu nga tayaba ate kwirayo mu kuvunda, yakobere ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakalira egya Dawudi. \p \v 35 Kubanga yatumwire ne mu Zabbuli egendi nti Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda. \p \v 36 Kubanga Dawudi bwe yamalire okuweereza mu biseera bye nga Katonda bwe yateeserye, nagona n'ateekebwa eri bazeizabe, n'avunda: \v 37 naye oyo Katonda gwe yazuukizirye teyavundire. \p \v 38 Kale, Abasaiza ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okutoolebwaku ebibi kubuuliirwe; \v 39 byonabyona bye mutandisoboire kutolebwaku mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli aikirirya abitolebwaku. \v 40 Kale mwekuume kireke okwiza ku imwe ekyatumwirwe banabbi nti \v 41 Bona, imwe abanyooma, mwewuunye, mugote; Kubanga nze nkola omulimu mu naku gyanyu Omulimu gwe mutaikirirya waire omuntu ng'agubabuuliire inu. \p \v 42 Bwe baafulumire ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku sabbiiti ey'okubiri. \v 43 Ekibiina bwe kyasaansaanire bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne batumulira Pawulo no Balunabba: Boona ne batumula nabo ne babasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda. \p \v 44 Awo ku sabbiiti ey'okubiri ne bakuÅ‹aana nge kibuga kyonakyina okuwulira ekigambo kya Katonda. \v 45 Naye Abayudaaya bwe baboine ekibiina, ne baizula eiyali, ne bawakanya ebyatumwirwe Pawulo, nga babivuma. \v 46 Pawulo no Balunabba ne batumula n'obuvumu nti Kyagwanire okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu imwe. Kubanga mukisindiikirirya so temwiraba kusaanira bulamu obutawaawo, bona, tukyukira eri ab'amawanga. \v 47 Kubanga Mukama yatulagiire ati nti Nkuteekerewo okubbanga omusana gw'amawanga, Obbanga obulokozi okutuusia ku nkomerero y'ensi. \p \v 48 Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumizia ekigambo kya Katonda: bonabona ne baikirirya ababbaire bagisisiibwe obulamu obutaggwaawo. \v 49 Ekigambo kya Mukama waisu ne kibuna mu nsi edi yonayona. \p \v 50 Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayiganyisia Pawulo no Balunabba, ne bababbinga mu mbibi gyabwe. \v 51 Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne baiza okutuuka Ikoniyo. \v 52 Abayigirizwa ne baizula eisanyu n'Omwoyo Omutukuvu. \c 14 \cl Ensuula 14 \p \v 1 Awo olwatuukire mu Ikonio ne bayingirira wamu mu ikuÅ‹aaniro ly'Abayudaaya, ne batumula batyo ekibiina kinene n'okwikirirya ne baikirirya, Abayudaaya n'Abayonaani. \v 2 Naye Abayudaaya abataagondere ni beesoomera ab'amawanga ne bafuula emeeme gyabwe okubba embibbi eri ab'oluganda. \v 3 Awo ne bamala ebiseera bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waisu, eyategeezerye ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe. \p \v 4 Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babba ku ludda lw'Abayudaaya abandi ku ludda lw'abatume. \v 5 Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumbire okubakolera ekyeju, okubakubba amabbaale, \v 6 bwe baategeire ne bairukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo: \v 7 ne babba eyo nga babuulira enjiri. \p \v 8 Mu Lusitula yabbaireyo omuntu nga abula maani mu bigere n'abbanga awo, muleme okuva mu kida kya maye nga tatambulangaku n'akatono. \v 9 Oyo n'awulira Pawulo ng'atumula: naye n'amwekalirizia amaiso n'abona ng'alina okwikirirya okulokoka, \v 10 n'atumula n'eidoboozi inene nti Yemerera ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula. \p \v 11 Ebibiina bwe baboine Pawulo ky'akolere, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga batumula mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda baikire gye tuli nga bafaanana abantu. \v 12 Balunabba ne bamweta Zewu; ne Pawulo ne bamweta Kerume, kubanga niiye yasingire okutumula. \v 13 Kabona wa Zewu, eyabbaire mu maiso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule gy'ebimuli okutuuka ku lwigi ng'ataka okuwaayo sadaaka n'ebibiina. \p \v 14 Naye abatume Balunabba no Pawulo bwe baawuliire, ne bakanula engoye gyabwe ne bafubutuka na baaba mu kibiina, nga boogerera waggulu \v 15 nga bakoba nti Abasaiza, kiki ekibakozesya ebyo? Feena tuli bantu abakwatibwa Byonabyona nga imwe, era tubabuulira ebigambo ebisa muleke ebyo ebibulamu kaisi Katonda omulamu, eyakolere eigulu n'ensi n'enyanza n'ebintu byonabyona ebirimu: \v 16 mu mirembe egyabitire yalekere amawanga gonagona okutambuliranga mu mangi gaago: \v 17 naye teyeemalireyo nga bula mujulizi, kubanga yakolanga kusa, ng'abatonyeseryanga amaizi okuva mu igulu n’ebiseera eby'okubalirangamu emere, ng'aizulyanga emyoyo gyanyu emere n'eisanyu. \v 18 Bwe batumwire ebyo, ne baziyizia ebibiina lwe mpaka okubawa sadaaka. \p \v 19 Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne besoomera ebibiina ne bakubba amabbaale Pawulo, ne bamuwalulira ewanza w'ekibuga, nga balowooza nti afiire. \v 20 Naye abayigirizwa bwe baamwetooloire n'ayemerera n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olw'okubiri n'ayaba no Balunabba okutuuka e Derube. \v 21 Bwe baamalire okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne baira mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya, \v 22 nga banywezia emeeme gy'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kwikiriya, era nti olw'okulbona enaku enyingi kitugwaniire okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. \v 23 Bwe baamalire okulondera abakaire mu buli kanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waisu gwe baikirirya. \p \v 24 Ne babita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya. \v 25 Bwe baamalire okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya; \v 26 ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka Antiyokiya; abaayo niibo abaabasigiire ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukirizirye. \v 27 Bwe baatuukire ne bakuÅ‹aanya ekanisa, ne bababuulira byonabyona Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaiguliirewo ab'amawanga olwigi olw'okwikirirya. \v 28 Ne bamalayo ebiseera bingi wamu n'abayigirizwa. \c 15 \cl Ensuula 15 \p \v 1 Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne begeresya ab'oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka. \v 2 Bwe wabbaire empaka enyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo no Balunabba, ku luuyi olumu, boona abaaviire e Buyudaaya, ne balagira Pawulo no Balunabba n'abandi ku ibo okwaba e Yerusaalemi eri abatume n'abakaire \v 3 Awo abo bwe baamalire okusibirirwa ab'ekanisa ne babita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga banyonyolera dala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyukirya dala ab'oluganda bonabona. \v 4 Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekanisa n'abatume n'abakaire ne babasembelya, ne babuulira byonabyona Katonda bye yakoleranga awamu nabo. \p \v 5 Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abaikirirya, nga bakoba nti Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa. \p \v 6 Abatume n'abakaire ne bakuŋaana okwetegerezia ekigambo ekyo. \v 7 Bwe wabbaire okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayemerera n'abakoba nti Abasaiza ab'oluganda, imwe mumaite nti okuva mu naku egy'eira Katonda yalondere mu imwe ab'amawanga bawulire mu munwa gwange ekigambo eky'enjiri ne baikirirya. \v 8 No Katonda amaite emyoyo n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ife; \v 9 n'atayawula ife nabo, bwe yalongooserye emyoyo gyabwe olw'okwikirirya. \v 10 Kale Atyanu mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu ikoti lyabayigirizwa bazeiza baisi kye batasoboire kutwala waire ife? \v 11 Naye twikirirya okulokolebwa lwe kisa kya Mukama waisu Yesu, era boona batyo. \p \v 12 Ekibiina kyonakyona ne kisirika; ne bawulira Balunabba no Pawulo nga banyonyola obubonero n'eby'amagero byonabyona Katonda bye yabakolanga mu mawanga. \p \v 13 Abo bwe baamalire okusirika Yakobo n'airamu ng'akoba nti Abasaiza ab'oluganda, mumpulire. \v 14 Simyoni anyonyoire Katonda bwe yasookere okulingirira amawanga okutooleramu eriina lye abantu. \v 15 Ebigambo bya banabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikiibwe nti \v 16 Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba ate eweema ya Dawudi eyagwire; Okumenyeka kwayo ndikuzimba ate, Era ndigigolokosia: \v 17 Abantu abasigalawo basagire Mukama, N'amawanga gonagona abeetebwa eriina lyange ku ibo, \v 18 Bw'atumula Mukama, ategeeza ebyo byonabyona okuva ku luberyeberye lw'ensi. \p \v 19 Kyenva nsalawo tuleke okudagisya abava mu mawanga okukyukira Katonda; \v 20 naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiibwe, n'omusaayi. \v 21 Kubanga okuva eira Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋaaniro buli sabbiiti. \p \v 22 Awo ne bakisiima abatume n'abakaire wamu n'ekanisa yonayona okulonda abantu mu ibo n'okubatuma Antiyokiya n Pawulo n Balunabba; Yuda ayetebwa Balusaba n Siira, abantu abakulu mu b'oluganda: \v 23 ne bawandiika ne bagikwasya mu mikono gyabwe nti Abatume n'ab'oluganda abakaire tusugiirye ab'oluganda abali mu Antiyokiya no Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga: \v 24 kubanga tuwuliire nti abantu abaava ewaisu baabasasamalya n'ebigambo nga bakyusia emeeme gyanyu, be tutalagiranga; \v 25 tusiimire, bwe tutabagaine n'omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n'abatakibwa baisu Balunabba no Pawulo, \v 26 abantu abaasingirewo obulamu bwabwe olw'eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo. \v 27 Kyetuviire tutuma Yuda no Siira era abalibabuulira obumu beene n'omunwa. \v 28 Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiimire feena tuleme okubatika omugugu omunene gwonagwona wabula bino ebigwana, \v 29 okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiibwe, n'obwenzi: bwe mwekuumanga ebyo, mwabbanga kusa. Mweraba. \p \v 30 Awo ibo bwe basindikiibwe ne baiza Antiyokiya, ne bakuŋaanya ekibiina ne babakwatisya ebbaluwa. \v 31 Bwe baasomere ne basanyuka olw'okubuulirirwa okwo. \v 32 Yuda no Siira, kubanga boona babbaire banabbi, ne babuulirira ab'oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya. \p \v 33 Bwe baamalireyo ebiseera, ne basiibulwa ab'oluganda n'emirembe okwirayo eri abaabatumire. \v 34 Naye Siira yasiimire okusigalayo. \v 35 Naye Pawulo no Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga begeresyanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waisu wamu n'abandi bangi era. \p \v 36 Enaku bwe gyabitirewo Pawulo n'akoba Balunabba nti Kale twireyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twababuuliire ekigambo kya Mukama waisu, tubone nga bwe bali. \v 37 Balunabba era n’ataka okutwala Yokaana eriina lye ery'okubiri Mako: \v 38 naye Pawulo teyasiimire kumutwala oyo yabalekere mu Panfuliya n'atayaba nabo ku mulimu. \v 39 Ne wabbaawo empaka nyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Mako n'awanika amatanga okwaba e Kupulo; \v 40 naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigiire ekisa kya Mukama waisu. \v 41 N'abita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekanisa. \c 16 \cl Ensuula 16 \p \v 1 Era n'atuuka e Derube ne Lusitula: bona, yabbaireyo omuyigirizwa eriina lye Timoseewo, omwana w'omukali Omuyudaaya eyaikirirye: naye Itaaye Muyonaani; \v 2 eyasiimiibwe ab'oluganda abbbaire mu Lusitula ne Ikonio. \v 3 Oyo Pawulo n'ataka okwaba naye; n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abbbaire mu bifo ebyo: kubanga bonabona baamumanyire nga Itaaye yabbaire Muyonaani. \p \v 4 Bwe babbaire nga babita mu bibuga ne babawa okukwatanga ebyalagiirwe abatume n'abakaire abbbaire mu Yerusaalemi. \p \v 5 Awo ekanisa ne gigumira mu kwikirirya, ne gyeyongeranga ku muwendo buli lunaku. \p \v 6 Ne babita mu nsi y'e Fulugiya ne Galatiya, kubanga baagaaniibwe Omwoyo Omutukuvu okutumula ekigambo mu Asiya; \v 7 bwe baatuukiire okumpi ne Musiya, ne bagezyaku okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo gwa Yesu n'atabaikirirya; \v 8 ne beekooloobya Musiya, ne batuuka e Tulowa. \v 9 Pawulo n'abona okwolesewa obwire, omuntu Omumakedoni ng'ayemereire era ng'amwegayirira ng'akoba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe. \v 10 Bwe yamalire okubona okwolesewa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okwaba e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atwetere okubabuulira enjiri. \p \v 11 Kyetwaviire tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata engira engolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Neyapoli; \v 12 ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky'e Makedoni ekisookerwaku mu njuyi egyo, ekyazimbiibwe Abaruumi: ne tubba mu kibuga omwo ne tulwamu enaku. \p \v 13 Awo ku lunaku lwa sabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okwaba ku mwiga bwe twalowoozerye nga yabbaireyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutyama ne tutumula n'abakali \v 14 Awo omukali eriina lye Ludiya, omutungi w'engoye egye'fulungu, wo mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n’atuwulira: Mukama waisu n'amubikula omwoyo gwe okuwulira Pawulo bye tumula. \v 15 Bwe yabatiziibwe iye n'enyumba ye, n'atwegayirira ng'akoba nti Oba nga munsiimire okubba omwesigwa eri Mukama waisu, muyingire mu nyumba yange mubbe omwo. N'atuwalirizia. \p \v 16 Awo olwatuukire bwe twabbaire twaba wadi awaasabirwanga, omuwala eyabbaireku dayimooni alagula n'atukyanga, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula. \v 17 Oyo bwe yabasengereirye Pawulo naife n'atumulira waigulu ng'akoba nti Abantu bano baidu ba Katonda Ali waigulu einu, abababuulira engira ey'obulokozi. \p \v 18 N'akolanga atyo enaku nyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwaire einu, n'akyuka n'akoba dayimooni nti Nkulagira mu liina lya Yesu Kristo omuveeku. N'amuvaaku mu kiseera ekyo. \p \v 19 Naye bakama be bwe baboine ng'eisuubi ly'ebintu byabwe liweirewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu, \v 20 ne babatwala eri abalamuzi ne bakoba nti Abantu bano basasamaza inu ekibuga kyaisu, kubanga Bayudaaya \v 21 era begeresya empisa egy'omuzizo ife okugikwatanga waire okugikolanga kubanga tuli Barooma. \p \v 22 Ekibiina ne kibagolokokeraku wamu: abalamuzi ne babakanulira engoye gyabwe, ne balagira okubakubba emiggo. \v 23 Bwe baabakubbire emiggo emingi ne babasindikira mu ikomera, ne balagira omukuumi okubakuuma einu: \v 24 oyo bwe yalagiirwe atyo n'abasindiikirirya mu ikomera ery'omukati, n'akomerera ebigere byabwe mu nvuba. \p \v 25 Naye obwire mu itumbi Pawulo no Siira ne basaba ne bayembera Katonda, abasibe ne babawulira; \v 26 amangu ago ne wabbaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'eikomera ne gikankana: amangu ago enjigi gyonagyona ne giguka; n'ebyabbaire bibasibire bonabona ne bisumulukuka. \v 27 Omukuumi w'eikomera n'azuuka, bwe yaboine enjigi gy'eikomera nga giigukire n'asowola ekitala kye n'ayaba okweita, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombere. \p \v 28 Naye Pawulo n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene ng'akoba nti Teweekola kabbiibi: kubanga fenafena tuli wano. \p \v 29 N'asaba etabaaza n'airuka n'ayingira, n'afukamirira Pawulo ne Siira, ng'akankana, \v 30 N'abafulumya ewanza n'akoba nti Basebo, kiÅ‹waniire kukola ntya okulokolebwa? \p \v 31 Ne bakoba nti Ikirirya Mukama waisu Yesu, walokoka iwe n'enyumba yo. \p \v 32 Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waisu ne bonabona ababbaire mu nyumba ye. \v 33 N'abatwala mu kiseera ekyo obwire n'abanaabya emiigo; n'abatizibwa iye n'enyumba ye yonayona amangu ago. \v 34 N'abaniinisia mu nyumba ye, n'abaleetera emeeza, n'asanyuka inu n'enyumba ye yonayona ng'aikirirye Katonda. \p \v 35 Naye bwe bwakyeire amakeeri, abalamuzi ne batuma basirikale baabwe nga bakoba nti Musumulule abantu abo. \p \v 36 Omukuumi w'eikomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumire okubasumulula: kale Atyanu mufulume, mwabe n'emirembe. \p \v 37 Naye Pawulo n'abakoba nti Batukubbire mu maiso ga bantu nga tukaali kusalirwa musango, nga tuli Bantu Barooma ne batusindiikirirya mu ikomera; ne batutoolamu kyama? Bbe; naye baize beene batufulumye. \p \v 38 Basirikale ne bakobera abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawuliire nga Baroomo: \v 39 ne baiza ne babeegayirira, ne babafulumya, ne bataka bave mu kibuga. \v 40 Ne bafuluma mu ikomera, ne bayingira mu nyumba ya Ludiya, ne babona ab'oluganda ne babasanyusia ne bavaayo. \c 17 \cl Ensuula 17 \p \v 1 Ne Babita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sesaloniika ewabbaire eikuŋaaniro ly'Abayudaaya: \v 2 awo Pawulo nga bwe yabbaire empisa ye n'ayingira mu ibo, mu sabbiiti isatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa, \v 3 ng'abikula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwaniire okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira niiye Kristo. \v 4 Abamu ku ibo ne baikirirya ne beegaita ne Pawulo no Siira; n'Abayonaani abeegenderezia ekibiina kinene n'abakyala abakulu ti batono. \p \v 5 Naye Abayudaaya bwe baakwatiibwe eiyali ne batwala abantu ababbiibi ab'omu bakopi ne bakuÅ‹aanyisia abantu ne basasamazia ekibuga. Ne bazingiza enyumba ya Yasooni ne bataka okubaleeta mu maiso g'abantu. \v 6 Bwe bataababoine, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwaire mu maiso g'abakulu ab'omu kibuga nga batumulira waigulu nti Bano abavuunika ensi baizire ne wano; \v 7 ne Yasooni yabasembezerye. Bano bonabona bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bakoba nti Waliwo kabaka ogondi, Yesu. \v 8 Ne basasamazia ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawuliire ebyo. \v 9 Bwe baamalire okweyemererya Yasooni n'abantu, ne babalekula. \p \v 10 Amangu ago ab'oluganda ne basindika obwire Pawulo ne Siira okwaba e Beroya: boona bwe baatuukire eyo ne bayingira mu ikuÅ‹aaniro ly'Abayudaaya. \v 11 Naye bano babbaire basa okusinga ab'e Sesalonika, kubanga baikiriirye ekigambo n'omwoyo omwangu einu, buli lunaku nga basagira mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bityo. \v 12 Abamu bangi kyebaaviire baikirirya, era n'abakali abakyala Abayonaani n'abasaiza ti batono. \p \v 13 Naye Abayudaaya ab'e Sesalonika bwe baategeire ng'ekigambo kya Katonda kibuuliirwe Pawulo era mu Beroya, era ne baizayo ne beesomera ebibiina ne basasamazia. \v 14 Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okwaba okutuuka ku nyanza: Siira no Timoseewo ne babba eyo. \v 15 Naye abaawerekeire Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okukoba Siira ne Timoseewo baize gy'ali amangu nga bwe basoboire, ne baaba. \p \v 16 Naye Pawulo bwe yabbaire mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yaboine ekibuga nga kizwiire ebifaananyi. \v 17 Awo n'awakaniranga mu ikuŋaaniro n'Abayudaaya n'ababbaire batya Katonda era no mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga. \p \v 18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo na Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bakoba nti Ataka kutumula ki abujabujana ono? Abandi ne bakoba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abayaaka: kubanga yabbaire ng'abuulira Yesu n'okuzuukira. \p \v 19 Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bakoba nti Twasobola okutegeera okuyigiriza kuno okuyaka kw'otumula nga bwe kuli? \v 20 Kubanga oleeta ebigambo ebiyaaka mu matu gaisu: kyetuviire tutaka okutegeera amakulu g'ebigambo bino. \v 21 (Abaasene bonabona n'abageni abaabbangayo tibaakolanga kintu kindi wabula okutumulanga oba okuwuliranga ekigambo ekiyaaka.) \p \v 22 Pawulo n'ayemerera wakati wa Aleyopaago n'akoba nti Abasaiza Abaasene, mbaboine mu byonabyona nga mutya inu balubaale. \v 23 Kubanga bwe mbaire mbita ne ningirira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiibweku nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira. \p \v 24 Katonda eyakolere ensi n'ebirimu byonabyona, oyo kubanga niiye Mukama w'eigulu n'ensi tabba mu masabo agakolebwa n'emikono, \v 25 so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo niiye abawa bonabona obulamu n'okwikirirya omwoka ne byonabyona; \v 26 yakolere okuva ku mumu buli igwanga ly'abantu okutyamanga ku nsi enjuyi gyonagyona, bwe yalagiire n'ayawulamu ebiseera n'ensalo egy'okutyama kwabwe: \v 27 basagirenga Katonda koizi bawamante okumubona, waire nga tali wala wa buli mumu ku ife: \v 28 kubanga mu oyo tubba balamu, tutambula, tubbaawo; era ng'abandi ab'ewanyu abayiiya bwe bakoba nti Kubanga era tuli izaire lye. \p \v 29 Kale bwe tuli eizaire lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba feeza oba ibbaale, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu. \v 30 Kale Katonda ebiseera ebyo eby'obutamanya teyabiringiriranga; naye atyanu alagira abantu bonabona abali wonawona okwenenya, \v 31 kubanga yateekerewo olunaku lw'ayaba okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi gyonagyona mu muntu gwe yayawiremu, bwe yamalire okuwa bonabona ekikirizisia bwe yamuzuukizirye mu bafu. \p \v 32 Naye bwe baawuliire okuzuukira kw'abafu abamu ne baÅ‹oola; abandi ne bakoba nti Era tulikuwulira ate olw'ekigambo ekyo. \v 33 Bwe Pawulo n'abavaamu wakati. \v 34 Naye Abasaiza abamu ne beegaita naye ne baikirirya: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukali eriina lye Damali, n’abandi wamu nabo. \c 18 \cl Ensuula 18 \p \v 1 Awo oluvanyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kolinso. \v 2 N'abona omuntu Omuyudaaya eriina lye Akula, eyazaaliibwe mu Ponto, yabbaire yakaaiza ave mu Italiya, no mukali we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yabbaire alagiire Abayudaaya bonabona okuva mu Rooma: n'aiza gye baali; \v 3 era kubanga babbaire n'omulimu gumu n'abbanga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe babbaire bakozi b'eweema. \v 4 N'awakaniranga mu ikuŋaaniro buli sabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani. \p \v 5 Naye Siira no Timoseewo bwe baaviire e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu niiye Kristo. \v 6 Bwe baamutangiire ne bamuvuma, n’akunkumula engoye gye n'abakoba nti Omusaayi gwanyu gubbe ku mitwe gyanyu: nze ndi mulongoofu: okutandiika atyanu nayaba eri ab'amawanga. \v 7 N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu eriina lye Tito Yusito, atya Katonda, enyumba ye eriraine eikuŋaniro. \v 8 Era Kulisupo, omukulu w'eikuŋaaniro, n'aikirirya Mukama waisu n'enyumba ye yonayona; n'Abakolinso bangi bwe baawuliire ne baikirirya ne babatizibwa. \p \v 9 Mukama waisu n'akoba Pawulo obwire mu kwolesewa nti Totya naye tumulanga, tosirikanga, \v 10 kubanga nze ndi wamu naiwe; so wabula muntu eyakulumbanga okukukola obubbiibi: kubanga ndina abantu bangi mu kibuga muno. \v 11 N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayegeresyanga ekigambo kya Katonda mu ibo. \p \v 12 Naye Galiyo bwe yabbaire nga iye weisaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango, \v 13 nga bakoba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira. \p \v 14 Naye Pawulo bwe yabbaire ayaba okwasama omunwa gwe, Galiyo n'akoba Abayudaaya nti Singa wabbbairewo okusobya oba kwonoona okubbiibi, imwe Abayudaaya, nandibagumiinkirizirye: \v 15 naye oba nga waliwo okubuulyagana okw'ebigambo: n'amaina n'amateeka agali mu imwe, ekyo kyanyu: nze tintaka kusala musango gw'ebyo. \v 16 N'ababbinga awasalirwa emisango. \v 17 Bonabona ne bakwata Sosene omukulu w'eikuÅ‹aaniro ne bamukubbira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafiireyo mu bigambo ebyo. \p \v 18 Pawulo n'amalayo enaku nyingi egindi ate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'awanika amatanga okwaba e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamalire okumwera enziiri mu Kekereya; kubanga yeerayiriire. \v 19 Ne batuuka mu Efeso, badi n'abalekere eyo; naye iye mwene n'ayingira mu ikuÅ‹aaniro n'awakana n'Abayudaaya. \v 20 Bwe bamutakire okweyongera okutyama n'ataikirirya; \v 21 naye n'abasiibula n'akoba nti Ndiira ate gye muli Katonda ng'atakire, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso. \p \v 22 N'agoba e Kayisaliya, n'aniina n'asugirya ab'ekanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya. \p \v 23 Bwe yamalireyo ebiseera ti bingi n'avaayo, n'abitira mu nsi y'e Galatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonabona. \p \v 24 Awo omuntu Omuyudaaya eriina lye Apolo eyazaaliirwe mu Alegezandereya, omuntu eyayigiriziibwe, oyo n'atuuka mu Efeso, eyabbaire omugezi mu byawandiikibwa. \v 25 Oyo yabbaire ng'abuuliirwe engira ya Mukama waisu, ng'ayaka mu mwoyo n'atumula n'ayegeresya inu ebigambo bya Yesu, ng'amaite okubatiza kwa Yokaana kwonka: \v 26 oyo n'atandiika okutumula n'obugumu mu ikuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawuliire ne bamutwala gye bali, ne batumula okumutegeerezia dala engira ya Katonda. \p \v 27 Bwe yatakire okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembezia: bwe yatuukiire n'abayambanga inu abaikirirya olw'ekisa: \v 28 kubanga yasinganga Abayudaaya amaani amangi mu maiso g'abantu, ng'ategeezianga mu byawandiikiibwe nga Yesu niiye Kristo. \c 19 \cl Ensuula 19 \p \v 1 Awo olwatuukire Apolo bwe yabbaire e Kolinso, Pawulo bwe yabitiirr mu njuyi egiri waigulu n'atuuka mu Efeso n'asanga abayigirizwa abamu: \v 2 n'abakoba nti Mwaweweibwe Omwoyo Omutukuvu bwe mwaikiriirye? Ne bamukoba nti Bbe, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu. \p \v 3 N'akoba nti Kale mwabatiziibwe kuyingira mu ki? Ne bamukoba nti Mu kubatizibwa kwa Yokaana. \p \v 4 Pawulo n'atumula nti Yokaana yabatizire kubatiza kw'okwenenya, ng'akoba abantu baikirirye ayaba okwiza enyuma we, niiye Yesu. \v 5 Bwe baawuliire ne babatizibwa okuyingira mu liina lya Mukama waisu Yesu. \v 6 Pawulo bwe yabateekereku emikono, Omwoyo Omutukuvu n'aiza ku ibo, ne batumula enimi ne balagula. \v 7 Abantu bonabona babbaire nga ikumi na babiri. \p \v 8 N'ayingira mu ikuÅ‹aaniro n'atumulanga n'obuvumu okumala emyezi isatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga olw'ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda. \v 9 Naye abamu bwe baakakanyaire ne batawulira, nga bavumanga Engira mu maiso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu isomero lya Tulaano. \v 10 Ebyo ne bimala emyaka ibiri, ne bonabona ababbaire batyama mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waisu, Abayudaaya n'Abayonaani. \p \v 11 Katonda n'akolanga eby'amagero ebitabonebwa buli lunaku mu mikono gya Pawulo, \v 12 n'abalwaire ne baleeterwanga ebiremba n'engoye egy'oku mubiri gwe, endwaire ne zibavangaku, dayimooni n'abavangaku. \p \v 13 Naye era abantu Abayudaaya ababulaku waabwe, ababbingire dayimooni, ne beetulinkirirya okutumula eriina lya Mukama waisu Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bakoba nti Mbalayirya Yesu Pawulo gw'abuulira. \v 14 Awo wabbairewo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakolere batyo. \p \v 15 Dayimooni n'airamu n'abakoba nti Yesu mutegeera no Pawulo mumaite; naye imwe niimwe baani? \v 16 Omuntu eyabbaire ku dayimooni n'ababuukira n'abasinga bonabona n'abayinza, n'okwiruka ne bairuka okuva mu nyumba edi nga bali bwereere nga balina ebiwundu. \v 17 Ekyo ne kitegeerwa bonabona Abayudaaya n'Abayonaani abaatyamanga mu Efeso; Entiisia n'ebakwata bonabona, eriina lya Mukama waisu Yesu ne ligulumizibwa. \p \v 18 Era bangi ku ibo abaikirirya ne baiza, ne batyama ne bategeeza ebikolwa byabwe. \v 19 Era bangi ku ibo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokyerya mu maiso gaabwe bonabona: ne babala omuwendo gwabyo ne babona ebitundu bya feeza emitwalo itaan. \p \v 20 Kityo ekigambo kya Mukama waisu ne kyeyongeranga mu maani ne kiwangula. \p \v 21 Ebyo bwe byaweire, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okubitira mu Makedoni ne Akaya, n'okwaba e Yerusaalemi, ng'akoba nti Bwe ndimala okubba eyo, era kingwaniire okubona ne Rooma. \v 22 N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, iye mwene n'alwayo ebiseera ti bingi mu Asiya. \p \v 23 Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwanu ti katono olw'Engira. \v 24 Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi we feeza eyakolanga obusabo obwa feeza obwa Atemi n'afuniranga abaweesi amagoba ti matono; \v 25 n'akuÅ‹aanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'akoba nti Abasaiza, mumaite nti omulimu ogwo obugaiga bwaisu mwe buva; \v 26 mubona era muwulira nga ti mu Efeso mwonka naye nga mu Asiya yonayona Pawulo oyo asendenderesendere era akyusirye ekibiina kinene, ng'akoba nti Abakoleibwe n'emikono ti bakatonda. \v 27 Naye ti niife fenka tuboine akabbiibi omulimu gwaisu okunyoomebwanga, era naye n'eisabo lya Atemi katonda omukulu omukali okulowoozebwanga nga ti kintu, n'oyo n'okutoolebwa n'atoolebwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonayona n'ensi gy'onagyona. \p \v 28 Bwe baawuliire ne baizula obusungu ne batumulira waigulu nga bakoba nti Atemi w'Abaefeso mukulu. \v 29 Ekibuga kyonakyona ne kizula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu teyatero, bwe baamalire okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo. \v 30 Pawulo bwe yatakire okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamwikirirya. \v 31 Era abakulu abamu aba Asiya, ababbaire mikwanu gye, ne bamulingirira nga bamwegayirira aleke okwewaayo mu teyatero. \p \v 32 Abamu ne batumulira waigulu bundi, n'abandi bundi, kubanga ekibiina kyabbaire kyetabwire, so n'abandi bangi ne batategeera nsonga ebakuÅ‹aanyizirye. \v 33 Ne batoola Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikirirya. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ataka okwenyonyola eri abantu. \v 34 Naye bwe baamutegeire nga Muyudaaya, bonabona ne batumulira waigulu n'eidoboozi limu okumala ng'essaawa ibiri nti Atemi w'Abaefeso mukulu. \p \v 35 Omuwandiiki bwe yasirikirye ekibiina, n'akoba nti Abasaiza Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso niikyo kikuuma eisabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu. \v 36 Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwaniire imwe okwikaikana n'obutakola kintu mu kwanguyirirya. \v 37 Kubanga muleetere abantu bano abatanyagire by'omu isabo so era tebavoire katonda waisu omukali. \v 38 Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko giriwo n'abaamasaza baliwo: baloopagane. \v 39 Naye oba nga musagira bindi, byasalirwa mu ikuŋaaniro eribbaawo buliijo. \v 40 Kubanga dala tusobola okutuukwaku akabbiibi olw'akeegugungu kano aka atyanu, kubanga wabula nsonga gye tusobola okuwozia olw'okukuÅ‹aana kuno. Bwe yatumire atyo n'ayabulula ekibiina. \c 20 \cl Ensuula 20 \p \v 1 Akacwanu bwe kamalire okwikaikana, Pawulo n'abita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okwaba e Makedoni. \v 2 Bwe yabitire mu njuyi gidi n'abategeeza ebigambo bingi, n'atuuka e Buyonaani. \v 3 Bwe yamalire emyezi eisatu, era Abayudaaya bwe baamusaliire olukwe, bwe yabbaire ng'ayaba okubita mu nyanza okwirayo mu Makedoni. \v 4 Ne baaba naye okutuuka mu Asiya Sopateri Omuberoya mutaane wa Puulo; n'Abasesaloniika Alisutaluuko no Sekundo; no Gayo Omuderube no Timoseewo; n'AbasiyaTukiko no Tulofiimo. \v 5 Bano ne batangira ne batulindirira mu Tulowa. \v 6 Ife ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvanyuma lw'enaku egy'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukaku mu Tulowa mu naku itaanu; gye twamalire enaku omusanvu. \p \v 7 Awo ku lunaku olw'oluberyeberye mu sabbiiti, bwe twakuŋaanire okumenya emigaati, Pawulo n'aloogya nabo, ng'ataka okusitula amakeeri, n'alwawo mu kutumula okutuusia eitumbi. \v 8 Ne wabbaawo etabaaza nyingi mu kisenge ekya waigulu, mwe twakuŋaaniire. \v 9 Omulenzi eriina lye Yutuko n'atyama mu dirisa, n'akwatibwa endoolo nyingi; awo Pawulo bwe yalwirewo ng'akaali aloogya, ng'akwatiibwe endoolo nyingi n'ava mu nyumba ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afiire. \v 10 Pawulo n'aika n'amugwaku n'amuwambaatira n'akoba nti Temukubba ebiwoobe; obulamu bwe bulimu mukati. \v 11 N'aniina n'amenya omugaati n'alyaku n'alwawo ng'akaali aloogya okutuusia amakeeri, kaisi n'avaayo. \v 12 Ne baleeta omulenzi nga mulamu, ne basanyuka ti katono. \p \v 13 Naye ife ne tutangira okutuuka ku kyombo ne twaba okutuuka Aso, nga tutaka eyo okusiika Pawulo: kubanga yabbaire alagiire atyo, ng'ataka iye mwene okubita ku itale. \v 14 Bwe yatusangire mu Aso ne tumusika, ne twiza e Mituleene. \v 15 Ne tuwanika amatanga okuvaayo ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka mu maiso ga Kiyo; ku Iw'okusatu ne tugoba ku Samo; ku lw'okuna ne tutuuka mu Mireeto. \v 16 Kubanga Pawulo yasiima okubitira mu Efeso mu kyombo, aleke okulwa mu Asiya; kubanga yabbaire ayanguwa, oba nga kiyinzika okubba mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote. \p \v 17 Bwe yabbaire mu Mireeto n'atuma, mu Efeso n'ayeta abakaire b'ekanisa. \p \v 18 Bwe baatuukire gy'ali n'abakoba nti Imwe mumaite okuva ku lunaku olw'oluberyeberye bwe naninire mu Asiya, bwe n'abbanga naimwe mu biseera byonabyona, \v 19 nga mpeerezia Mukama waisu n'obuwombeefu bwonabwona n'amaliga n'okukemebwa kwe naboine mu nkwe gy'Abayudaaya: \v 20 bwe seekangire kubabuulira kigambo kyonakyona ekisaana, n'okubeegeresyanga mu maiso g'abantu ne mu buli nyumba, \v 21 nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katoada n'okwikirirya Mukama waisu Yesu Kristo. \p \v 22 Atyanu, bona, bwe nsibiibwe mu mwoyo, njaba Yerusaalemi nga timaite bye ndibona eyo, \v 23 wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza mu buli kibuga; ng'ankoba nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binindiriire. \v 24 Naye obulamu bwange timbulowooza nga kintu, nga bwo muwendo gye ndi, kaisi ntuukirirye olugendo lwange n'okuweereza kwe naweweibwe Mukama waisu Yesu, okutegeezanga enjiri ey'ekisa kya Katonda. \v 25 Atyanu, bona, nze maite nga temukaali mumbona maiso gange imwe mwenamwena be nabitangamu nga mbuulira obwakabaka. \v 26 Kyenva mbategeezia atyanu nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonabona, \v 27 kubanga tinegisanga kubabuulira kuteesia kwa Katonda kwonakwona. \v 28 Mwekuumenga imwe mwenka n'ekisibo kyonakyona Omwoyo Omutukuvu mwe yabateekere imwe okubba abalabirizi, okuliisyanga ekanisa ya Katonda gye yeeguliire n'omusaayi gwe meene. \v 29 Nze maite nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu imwe, tegirisaasira kisibo; \v 30 era mu imwe mwenka muliva abantu ngabatumula ebigambo ebikyamire, okuwalula abayigirizwa enyuma waabwe. \v 31 Kale mumoge, mwijukire nga tinalekanga kulabula n'amaliga buli muntu mu myaka eisatu emisana n'obwire. \p \v 32 Era ne atyanu mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonabona abatukuzibwa. \p \v 33 Tinegombanga feeza yo muntu yenayena waire zaabu waire ekivaalo. \v 34 Imwe mumaite ng'emikono gino niigyo gyakolanga bye neetaaga n'abo abali nanze. \v 35 Mbalagire mu byonabyona bwe kibagwanira okukolanga emirimu mutyo okuyambanga ababula maani, n'okwijukiranga ebigambo bya Mukama waisu Yesu bwe yakobere iye mwene nti Okugaba kwo mukisa okusinga okufuna. \p \v 36 Bwe yatumwire atyo n'afukamira n'asabira wamu nabo bonabona. \v 37 Ne bakakunga inu bonabona, ne bamugwa mu ikoti Pawulo ne bamunywegera, \v 38 nga banakuwala okusinga byonabyona olw'ekigambo kye yatumwire nti tebakaali bairayo kumubona. Ne bamuwerekeraku okutuuka ku kyombo. \c 21 \cl Ensuula 21 \p \v 1 Awo olwatuukire bwe twamalire okwawukana nabo ne tuvaayo, ne tukwata engira engolokofu okutuuka e Koosi, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala. \v 2 Bwe twasangire ekyombo nga kiwunguka okwaba e Foyiniiki, ne tusaabala ne twaba. \v 3 Bwe twalengeire Kupulo, ne tukireka ku mukono omugooda ne twaba e Busuuli, ne tugoba e Tuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyatakire okusiikululira ebintu. \p \v 4 Bwe twaboineyo abayigirizwa ne tumalayo enaku musanvu. Abo ne bakoba Pawulo mu Mwoyo aleke okuniina mu Yerusaalemi. \v 5 Awo bwe twamalireyo enaku egyo ne tuvaayo ne twaba; bonabona ne batuwerekeraku n'abakali n'abaana abatobato okutuuka ewanza w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'enyanza, ne tusaba; \v 6 ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye ibo ne bairayo eika. \p \v 7 Feena bwe twamalire olugendo lwaisu okuva e Tuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tusugieya ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu. \v 8 Ku lunaku olw'okubiri ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nyumba ya Firipo, omubuulizi w'enjiri, omumu ku badi omusanvu, ne tutyama naye. \v 9 Naye oyo yabbaire n'abawala bana abatamaite musaiza abaalagulanga. \p \v 10 Bwe twalwireyo enaku nyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nabbi eriina lye Agabo. \v 11 N'aiza gye tuli n'akwata olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'akoba nti atyo bw'atula Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba batyo mu Yerusaalemi omuntu mwene lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga. \p \v 12 Bwe Twawuliire ebyo, ife era n'abantu ab'omu kifo kidi ne tumwegayirira aleke okuniina mu Yerusaalemi. \p \v 13 Awo Pawulo Kaisi nairamu nti Mukola ki okukunga n'okumenya omwoyo gwange? Kubanga nze tinetegekere kusibibwa busibibwi era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waisu Yesu. \p \v 14 Bwe yalemere okuwulira ne tulekayo nga tukoba nti Mukama waisu ky’ataka kikolebwe. \p \v 15 Awo oluvanyuma lw'enaku egyo ne tusitula emigugu ne tuniina e Yerusaalemi. \v 16 Era n'abayigirizwa abaviire e Kayisaliya ne baaba naife, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'eira, ayaba okutusuzia. \p \v 17 Bwe twatuukiire mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batusembezia n'eisanyu. \v 18 Ku lunaku olw'okubiri Pawulo n'ayingira wamu naife omwa Yakobo; era n'abakaire bonabona baaliwo. \v 19 Bwe yamalire okubalamusa n'ababuulira kimu Ku kimu Katonda bye yakolanga mu mawanga mu kuweereza kwe. \v 20 Boona bwe baawuliire ne bagulumiza Katonda; ne bamukoba nti Obona, ow'oluganda, enkumi bwe giri mu Bayudaaya abantu abaikirirya; bonabona babbaire neiyali olw'amateeka: \v 21 abo babuuliirwe ebigambo byo nti iwe oyegeresya Abayudaaya bonabona abali mu mawanga okuleka Musa, ng'okoba baleke okukomolanga abaana abatobato waire okutambuliranga mu mpisa. \v 22 Kale kiki kino? Tebaaleke kuwulira ng'oizire. \v 23 Kale kola nga bwe tukukoba: tulina Abasaiza bana abeerayirira ekirayiro; \v 24 obatwale abo otukuzibwe wamu nabo, obawe efeeza beemwe emitwe: bonabona bategeera ng'ebigambo bye babuuliirwe ku iwe bibulamu; naye nga weena mwene weegendereza ng'okwata amateeka. \v 25 Naye ab'amawanga abaikirirya twawandiike ne tusala omusango nti beekuumenga mu bintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiibwe n'obwenzi. \v 26 Awo Pawulo kaisi n'atwala abantu, ku lunaku olw'okubiri n'atukuzibwa wamu nabo n'ayingira mu yeekaalu okulaga enaku ez'okutukuza bwe gituukire, okutuusia ekiweebwayo lwe kyaweebwayo olwa buli mumu ku ibo. \p \v 27 Awo enaku omusanvu bwe gyabbaire giri kumpi okutuuka, Abayudaaya abaaviire mu Asiya ne bamubona mu yeekaalu ne basasamalya ekibiina kyonakyona ne bamukwata, \v 28 nga batumulira waigulu nti Abasaiza Abaisiraeri, mutuyambe: ono niiye muntu odi ayegeresya bonabona buli kifo Obubbiibi ku bantu no ku mateeka ne ku kifo kino: era ate aleetere Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonere ekifo ekitukuvu. \v 29 Kubanga babbaire bamalire okubona Tulofiimo Omuwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bateerera nti Pawulo amuleetere mu yeekaalu. \v 30 Ekibuga kyonakyona ne kyegugumula, abantu ne bakuÅ‹aana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ewanza we yeekaalu: amangu ago enjigi ne giigalwawo. \p \v 31 Bwe babbaire basala amagezi okumwita, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basirikale nti Yerusaalemi kyonakyona kyefuukwire. \v 32 Amangu ago n'atwala basirikale n'abaami n'aserengetere gye baali mbiro: boona bwe baboine omwami omukulu n'abasirikale ne baleka okukubba Pawulo. \p \v 33 Awo omwami omukulu kaisi n'asembera n'amukwata n'alagira okumusibisya enjegere ibiri; n'abuulya nti niiye ani, ne ky'akolere kiki? \v 34 Abamu ab'omu kibiina ne batumurira waigulu bundi abandi bundi: bw'atasoboire kutegeera mazima olw'okuleekaana, n'alagira okumutwala mu kigo. \v 35 Bwe yatuukire ku madaala, kaisi n'asitulibwa basirikale olw'amaani g'ekibiina: \v 36 kubanga ekibiina ky'abantu babbaire basengererya nga batumurira waigulu nti Mwite. \p \v 37 Pawulo bwe yabbaire ng'ali kumpi okuyingizibwa mu kigo n'akoba omwami omukulu nti Kisa mbeeku kye nkukobera? N'akoba nti Omaite Oluyonaani? \v 38 Kale ti niiwe Mumisiri odi mu naku egyabitire eyajeemeserye abantu enkumi eina ku Batemu badi, n'abatwala mu idungu? \p \v 39 Naye Pawulo n’akoba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, ti wo mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayirire, ndeka ntumule n'abantu. \p \v 40 Bwe yamwikiriirye, Pawulo n'ayemera ku madaala n'awenya n'omukono abantu: bwe baamalire okusiriikirira dala, n'atumula mu lulimi Olwebbulaniya ng'akoba nti \c 22 \cl Ensuula 22 \p \v 1 Abasaiza ab'oluganda ne basebo, muwulire ensonga gye mbawozerya atyanu. \p \v 2 Bwe baawuliire ng'abakobere mu lulimi Olwebbulaniya ne beeyongera okusirika: n'akoba nti \v 3 Nze ndi muntu Muyudaaya, eyazaaliibwe mu Taluso eky'omu Kirukiya, naye eyalereirwe mu kibuga muno ku bigere bya Gamalyeri, eyayegereseibwe einu mu mpisa gy'amateeka ga bazeiza, ne mbanga n'eiyali lya Katonda nga imwe mwenamwena bwe muli atyanu: \v 4 ne njiganyanga ab'Engira eno n'okubaita, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasaiza n'abakali; \v 5 era no kabona asinga obukulu niiye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakaire bonabona: era boona ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okwaba e Damasiko abo ababbaire eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe. \p \v 6 Awo olwatuukire bwe nabbaire nga ntambula nga ndikumpi okutuuka e Damasiko, nga mu ituntu, amangu ago omusana mungi ogwava mu igulu ne gwaka ne guneetooloola; \v 7 ne ngwa wansi, ne mpulira eidoboozi nga linkoba nti Sawulo, Sawulo, onjiganyilya ki? \p \v 8 Nze ne ngiramu nti Niiwe ani, Mukama wange? N'ankoba nti Niinze Yesu Omunazaaleesi gw'oyigganya iwe. \p \v 9 Ababbaire awamu nanze ne babona omusana, naye ne batawulira idoboozi ly'oyo eyatumwire nanze. \v 10 Ne nkoba nti Nakola ntya, Mukama wange? Mukama waisu n'ankoba nti Golokoka, oyabe e Damasiko, wabuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonabyona by'olagiibwe okukola. \v 11 Bwe ntasoboire kubona olw'ekitiibwa ky'omusana gudi, ne nkwatibwa ku mukono abo abaali nanze ne ntuuka mu Damasiko. \v 12 Omuntu omumu eriina lye Ananiya atya Katonda mu mateeka, eyasiimiibwe Abayudaaya bonabona abatyama eyo, \v 13 n'aiza gye ndi n'ayemerera we ndi n'ankoba nti Ow'oluganda Sawulo, zibula. Mu kiseera ekyo ne nzibula okumulingirira. \v 14 N'ankoba nti Katonda wa bazeiza baisu yakulondere ida otegeere ebyo by'ataka, era obone Omutuukirivu odi, era owulire eidoboozi eriva mu munwa gwe. \v 15 Kubanga wabbanga mujulizi we eri abantu bonabona ow'ebigambo by'oboine ne by'owuliire. \v 16 Kale atyanu ekikulwisia ki? Golokoka, obatizibwe onabye ebibbiibi byo, nga weegayirira eriina lye. \p \v 17 Awo olwatuukire bwe nairire e Yerusaalemi, bwe nabbaire nga nsaba mu yeekaalu, omwoyo gwange ne guwaanyisibwa \v 18 ne mubona ng'ankoba nti Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebaliikirirya kutegeezia kwo ku nze. \v 19 Nzeena ne nkoba nti Mukama wange, ibo beene bamaite nti nze nabateekanga mu makomera era nga nabakubbiranga mu buli ikuŋaaniro abakwikiriirye: \v 20 era n'omusaayi ogw'omujulizi wo Suteefano bwe gwayiribwe, nanze mwene nabbaire nga nyemereire awo, nga nsiimire, nga nkuuma ebivaalo byabwe abaamwitire. \v 21 N'ankoba nti Yaba: kubanga nze njaba kukutuma wala mu b'amawanga. \p \v 22 Ne bamuwulisisya okutuusia ku kigambo kino, ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bakoba nti Atoolebwe mu nsi afaanana atyo: kubanga ti kisa abbe mulamu. \p \v 23 Bwe babbaire nga batumulira waigulu era nga bakasuka engoye gyabwe, era nga bafuumuulira waigulu enfuufu, \v 24 omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu kigo, ng'akoba okumukemererya n'emiigo kaisi ategeere ensonga gye bamulangire okutumulira waigulu ku iye batyo. \p \v 25 Bwe babbaire nga bamalire okumusibisya enkoba, Pawulo n'akoba omwami eyabbaire amwemereire okumpi nti Ti kyo muzizo imwe okukubba omuntu Omurooma nga akaali okusalirwa musango? \p \v 26 Omwami bwe yawulire n'ayaba eri omwami omukulu n'amukobera ng'akoba nti Oyaba kukola ki? Kubanga omuntu ono Murooma. \p \v 27 Omwami omukulu n'ayaba gy'ali, n'amukoba nti Nkobera, iwe oli Murooma? N'akoba nti Yee. \p \v 28 Omwami omukulu n'airamu nti Nze nafunire Oburooma buno n'ebintu bingi. Pawulo n'akoba nti Naye nze mwe nazaaliirwe. \v 29 Awo amangu ago kaisi ne bamuleka ababbaire baaba okumukemererya: era n'omwami omukulu n'atya bwe yamalire oku tegeera nga Murooma, era kubanga amusibire. \p \v 30 Naye ku lunaku olw'okubiri, bwe yatakire okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulangire okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonalwona okukuÅ‹aana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maiso gaabwe. \c 23 \cl Ensuula 23 \p \v 1 Pawulo ne yeekalirizia amaiso ab'olukiiko n'akoba nti Abasaiza ab'oluganda, nze neegendereza n'omwoyo gwonagwona omusa mu maiso ga Katonda okutuusya ku lunaku luno. \v 2 Pawulo kaisi amukoba nti Katonda alikukubba, iwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira? \p \v 3 Pawulo kaisi n'amukoba nti Katonda alikukubba, iwe ekisenge ekyasiigiibwe okutukula; era otyaime okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkubba ng'amateeka bwe gatalagira? \p \v 4 Ababbaire bamuyimirire okumpi ne bakoba nti Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda? \p \v 5 Pawulo n'akoba nti Mbaire timumaite, ab'oluganda, nga niiye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwe nti Totumulanga kubbiibi ku mukulu w'abantu bo. \p \v 6 Naye Pawulo bwe yategeire ng'ekitundu ekimu kya Basadukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'atumulira waigulu mu lukiiko nti Abasaiza ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'eisuubi n'okuzuukira kw'abafu. \v 7 Bwe yatumwire atyo ne wabbaawo okutongana Abafalisaayo n'Abasadukaayo, ekibiina ne kyawukanamu. \v 8 Kubanga Abasadukaayo bakoba nti wabula kuzuukira, waire malayika, waire omuzimu: naye Abafalisaayo baatula byombiri. \p \v 9 Ne wabbaawo okukaayana kungi: abawandiiki abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bemerera ne bawakana nga bakoba nti Tetubona kibbiibi ku muntu ono: era kyabbba kitya oba ng'omuzimu gwe gutumwire naye oba malayika? \v 10 Bwe wabbairewo okutongana okungi, omwami omukulu ng'atya Pawulo nga baaba okumukutulamu, n'alagira ekitongole okwiika wansi okumutoola wakati mu ibo olw'amaanyi, okumuleeta mu kigo. \p \v 11 Awo mu bwire obwokubiri, Mukama waisu n'ayemerera w'adi n'akoba nti Guma omwoyo: kuba nga bwe wategeezerye ebigambo byange mu Yerusaalemi, era kikugwaniire okutegeeza otyo no mu Rooma. \p \v 12 Bwe bwakyeire amakeeri, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamu nga bakoba nti tebaiza kulya waire okunywa wabula nga bamalire kwita Pawulo. \v 13 Abeekobaanire bwe batyo ne basuka ana. \v 14 Abo ne baiza eri bakabona abakulu n'abakaire ne bakoba nti Okwekolimira twekolimiire obutakomba ku kantu wabula nga tumalire okwita Pawulo. \v 15 Kale atyanu imwe n'olukiiko mukobe omwami omukulu amuleete wansi gye muli ng'abataka okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye: feena, yabba nga akaali kusembera, tweteekereteekere okumwita. \p \v 16 Naye omwana wa mwanyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'aiza n'ayingira mu kigo, n'akobera Pawulo. \p \v 17 Pawulo n'ayeta omumu ku baami n'amukoba nti Twala omulenzi ono eri omwami omukulu; kubanga alina ekigambo okumukobera. \p \v 18 Awo odi n'amutwala n'amuleeta eri omwami omukulu n'amukoba nti Pawulo omusibe yanjetere n'anegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'ayaba okukukukobera. \p \v 19 Omwami omukulu n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuulya nti Bigambo ki by'olina okunkobera? \p \v 20 N'akoba nti Abayudaaya bateeserye okukwegayirira okuleeta Pawulo amakeeri wansi mu lukiiko ng'ayaba okutumula okumubuulya amazima g'ebigambo bye. \v 21 Kale iwe tobaikirirya: kubanga abantu baabwe bamuteegere okusinga ana abeekolimiire obutalya waire okunywa wabula nga bamalire okumwita; boona atyanu beeteekereteekere nga balindirira iwe okubasuubizia. \p \v 22 Awo omwami omukulu n'asiibula omulenzi, bwe yamalire okumukuutira nti Tokoberaku muntu ng'onkobeire ebigambo bino. \p \v 23 N'ayeta babiri ku baami n'akoba nti Mutegeke abasirikale bibiri okwaba e Kayisaliya, n'ab'oku mbalaasi nsanvu, n'ab'amasimu bibiri, mu saawa ey'okusatu ey'obwire; \v 24 era bababonere ensolo kaisi beebagazieeku Pawulo era bamutwale mirembe eri Ferikisi oweisaza. \p \v 25 N'awandiika ebbaluwa engeri eno nti \v 26 Kulawudiyo Lusiya asugiirye oweisaza omusa einu Ferikisi, \v 27 Omuntu oyo bwe yamalire okukwatibwa Abayudaaya, bwe babbaire baaba okumwita, ne ngiza n'ekitongole gye babbaire ne mbamutoolaku, bwe nategeire nga Murooma. \v 28 Era bwe natakire okutegeera ensonga gye bamulangire okumuloopa, ne mutwala mu lukiiko lwabwe. \v 29 Ne mbona ng'aloopeibwe bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga wabula nsonga yo kumwita waire okusibibwa. \v 30 Bwe bankobeire nti bamusalira olukwe, amangu ago ne muweererya gy'oli; era ne ndagira abamuloopere okumuloopera mu maiso go. \p \v 31 Awo basserikale nga bwe balagiirwe ne batwala Pawulo ne bamuleeta mu bwire okutuuka mu Antipatuli. \v 32 Naye ku lunaku olw'okubiri ne baleka ab'oku mbalaasi okwaba naye ne bairayo mu kigo: \v 33 abo bwe baatuukire e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa oweisaza era ne bamwanjulira Pawulo. \p \v 34 Bwe yamalire okugisoma, n'abuulya eisaza gye yaviire; bwe yakobeirwe nti yaviire mu Kirukiya, \v 35 n'akoba nti Ndikukobera abakuloopa bwe balibbaawo boona: n'alagira okumukuumira mu nyumba ya Kerode. \c 24 \cl Ensuula 24 \p \v 1 Enaku bwe gyabitirewo etaanu, kabona asinga obukulu Ananiya n'aserengeta n'abakaire abamu n'omuntu omutumuli Terutuulo: abo ne bakobera oweisaza ebigambo Pawulo bye yaloopeibwe. \v 2 Bwe yayeteibwe, Terutuulo n'atandika okumuloopa ng'akoba nti Kubanga twabbaire tufunire emirembe mingi eri iwe, n'ebigambo ebibbiibi nga birongoosebwa mu igwanga lino olw'okulabirira kwo, \v 3 tubikirirya enaku gyonagyona no mu bifo byonabyona, Ferikisi omusa einu, n'okwebalya kwonakwona. \v 4 Naye ndeke okutumula okukukooya, nkwegayirire otuwulire mu bigambo bitono olw'obusa bwo. \v 5 Kubanga twaboine omuntu ono nga mubbiibi inu, ajeemesia Abayudaaya bonabona abali mu nsi gyonagyona, era niiye mukulu w'ekitundu ky'Abanazaaleesi: \v 6 yagezeryeku okwonoona yeekaalu: ne tumukwata, ne tutaka okumusalira omusango ng'amateeka gaisu bwe gali: \v 7 naye omwami omukulu Lusiya n'aiza n'amututoolaku mu mikono gyaisu n'amaani mangi, \v 8 bwe yalagiire abamuvunaana okwiza gy'oli: bwewamwebuulirya wenka wasobola okutegeera bino byonabyona bye tumuvunaana. \v 9 Era n'Abayudaaya ne bamuloopa bumu nga bakoba nti bityo bwe biri. \p \v 10 Awo oweisaza bwe yamuwenyere okutumula, Pawulo n'airamu nti Kubanga maite ng'oli mulamuzi w'eigwanga lino okuva mu myaka mingi, nkuwozerya ebigambo byange n'omwoyo omugumu; \v 11 kubanga oyinza okutegeera ng'enaku gikaali kubita ikumi n'eibiri! Kasookede niina e Yerusaalerni okusinza: \v 12 so bakaali kusanga mu yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesia ekibiina waire mu ukuÅ‹aaniro waire mu kibuga. \v 13 So tebasobola kukakasia w'oli ebigambo bye banvunaana atyanu. \v 14 Naye kino nkyatula w'oli nti Engira nga bweeri gye babita engikirirya, ntyo bwe mpeereza Katonda wa bazeiza baisu, nga ngikirirya byonabyona ebyawandiikiibwe mu mateeka no mu bya banabbi; \v 15 nga ndina eisuubi eri Katonda, era naabo beene lye basuubira, nti walibbaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu. \v 16 Era nyiikira mu kigambo ekyo okubbanga n'omwoyo ogubula musango eri Katonda n'eri abantu enaku gyonagyona. \v 17 Awo emyaka mingi bwe gyabitirewo ne ngiza okuleeta eby'abaavu eri eigwanga lyaisu n'ebiweebwayo: \v 18 bwe nabbaire mu ebyo Abayudaaya abamu abaviire mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga mbula kibiina waire oluyoogaano; \v 19 abagwaniire okubba w'oli n'okunumirirya oba nga balina ekigambo ku nze. \v 20 Oba bano batumule beene ekibbiibi kye baboine bwe nayemereire mu lukiiko \v 21 wabula olw'eidoboozi lino erimu lye natumuliire waigulu, nga nyemereire mu ibo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno. \p \v 22 Naye Ferikisi, kubanga iye yabbaire abasinga okumanya ebigambo eby'Ebyengira, n'abalwisaawo ng'akoba nti bw'aliserengeta Lusiya omwami omukulu, ndisala omusango gw'ebigambo byanyu. \v 23 N'alagira omwami okumukuuma n'okumuwa eibbanga; n'obutaziyiza muntu yenayena ku mikwanu gye, okumuweereza. \p \v 24 Naye enaku bwe gyabitirewo Ferikisi n'aiza no mukali we Dulusira, Omuyudaaya, n'ayeta Pawulo n'amuwulirizia ku bigambo eby'okwikirirya Kristo Yesu. \v 25 Bwe yabbaire ng'ateeza eby’obubutuukirivu, n'eby'okwegenderezia, n'eby'omusango ogugenda okwiza, Ferikisi n'atya n'airamu nti Yaba atyanu; bwe ndibba n’eibbanga, ndikweeta. \v 26 Era n'asuubira Pawulo okumuwa ebintu: kyekyaviire yeeyongeranga okumutumiranga okulogyanga naye. \p \v 27 Naye bwe wabitirewo emkyaka ibiri, obwa Ferikisi ne buweebwa Polukiyo Fesuto; Ferikisi bwe yatakire Abayudaaya okumusiima, n’aleka Pawulo nga musibe. \c 25 \cl Ensuula 25 \p \v 1 Awo Fesuto bwe yatuukiire mu isaza, bwe waabitirewo enaku isatu, n'ava mu Kayisaliya n'aniina e Yerusaalemi. \v 2 Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamukobera Pawulo bye yaloopeibwe; ne bamwegayirira, \v 3 nga bataka abakole obusa ku iye, amutumire okwiza e Yerusaalemi; bamuteegere mu ngira okumwita. \v 4 Naye Fesuto n'airamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye iye mweene yabbaire ng'ali kumpi okuvaayo okwaba. \v 5 N'akoba nti Kale abakulu mu imwe baabe nanze, bamuvunaane oyo oba ng'aliku ekibbiibi kyonakyona. \p \v 6 Bwe yamalireyo ewaabwe enaku egitaasingawo munaana oba ikumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atyama ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. \v 7 Bwe yatuukire Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bemerera okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye batasobola kulumirirya; \v 8 Pawulo n'awoza nti Tinyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya waire ku yeekaalu waire eri Kayisaali. \p \v 9 Naye Fesuto, bwe yatakire Abayudaaya okumusiima, n'aramu eri Pawulo n'akoba nti Otaka okwaba e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maiso gange? \p \v 10 Naye Pawulo n'akoba nti Nyemereire awali entebe esalirwaku emisango eya Kayisaali, we Å‹waniire okusalirwa omusango: tinyonoonanga eri Abayudaaya, era nga weena bw'otegeerera dala okusa. \v 11 Kale oba nga nayonoonere era nga nakolere ekigambo ekisaaniire okunzisa, tingaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, Wabula muntu asobola okumpaayo mu ibo. Njulira Kayisaali. \p \v 12 Fesuto bwe yamalire okuteesia nabo mu lukiiko kaisi nairamu nti Ojuliire Kayisaali: olyaba eri Kayisaali. \p \v 13 Awo bwe waabitirewo enaku, Agulipa kabaka no Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne basugirya Fesuto. \v 14 Bwe baamalireyo enaku nyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'akoba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yalekere nga musibe: \v 15 bwe nabbaire mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakaire b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga bataka okumusalira omusango. \v 16 Ne mbairamu nti Ti mpisa ya Barooma okuwaayo omuntu abamuvunaana nga bakaali kubbaawo mu maiso ge, era nga bakaali kuweebwa ibbanga lyo kuwozya bye bamuvunaana. \v 17 Awo bwe baakuÅ‹aaniire wano, tinalwiire n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwaku emisango ne ndagira okuleeta omusaiza oyo. \v 18 Bwe bayemereire abamuvunaana ne bataleeta nsonga ye bigambo bibbiibi nga bwe nabbaire ndowooza; \v 19 naye babbaire ku iye ebibuuzibwa mu idiini lyaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafiire, Pawulo gwe yatumwireku okubba omulamu. \v 20 Nzeena bwe nabulirwe bwe naakebeire ebyo, ne mubuulya ng'ataka okwaba e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino. \v 21 Naye Pawulo bwe yajuliirwe okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusia lwe ndimuweererya eri Kayisaali. \v 22 Agulipa n'akoba Fesuto nti Nanditakire nzeena okuwulira omuntu oyo. N'akoba nti Eizo olimuwulira. \p \v 23 Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe baizire n'ekitiibwa ekinene era bwe bayingiire mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa. \v 24 Fesuto n'akoba nti Agulipa kabaka naimwe mwenamwena abali wano naife, mumubona ono, ekibiina kyonakyona eky'Abayudaaya gwe gwebegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga batumulira waigulu nti tekimugwaniire kubba mulamu ate. \v 25 Naye nze ne ntegeera nga takolere kigambo ekisaaniire okumwitisya: naye iye bwe yajuliire Augusito ne nsaba okumuweerelyayo. \v 26 Mbula kigambo ku iye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenviire muleeta we muli, era okusinga w'oli, iwe kabaka Agulipa, bwe twamala okumukemererya kaisi mbe n'ekigambo eky'okuwandiika. \v 27 Kubanga mbona nga kyo busiru okuweereza omusibe n'obutawulira nsonga egiri ku iye. \c 26 \cl Ensuula 26 \p \v 1 Agulipa n'akoba Pawulo nti Okwikirizibwa okuwoza ensonga gyo. Awo Pawulo kaisi n'agolola omukono n'awozia nti \v 2 Bye navunaaniibwe Abayudaaya byonabyona, kabaka Agulipa, neesiimire kubanga njaba okubiwozia atyanu w'oli; \v 3 era okusinga kubanga omaite empisa n'ebibuuzibwa byonabyona ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiinkirize okumpulira. \p \v 4 Kale empisa gyange okuva mu butobuto egyaasookere okubbanga mu igwanga lyaisu no mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonabona bagimaite; \v 5 abantegeera okusooka eira, singa bataka okutegeera, bwe negenderezianga mu kitundu ekisinga obuzibu eky'eidiini lyaisu, ne mba Mufalisaayo. \p \v 6 Kaakano nyemereire okusalirwa omusango olw'eisubi Katonda lye yasuubizi bazeiza baisu; \v 7 lye basuubiire okutwikaku ebika byaisu eikumi n'ebibiri, nga banyiikira okuweerezanga Katonda emisana n'obwire: olw'eisuubi eryo, kabaka, Abayudaaya kyebaviire bampabira. \v 8 Kiki ekibalowoozesia nti tekisoboka Katonda okuzuukizia abafu? \p \v 9 Mazima nze nalowoozanga nzenka nga kiÅ‹waniire okukolanga obubbiibi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi. \v 10 N'okukola ne nkolanga ntyo e Yerusaalemi nze ne nsiibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe naweweibwe obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe baitibwe, ne ngikirirya okubaita. \v 11 Era bwe nababonere zianga mirundi mingi mu makuÅ‹aaniro gonagona ne mbawalirizianga okuvoola; ne mbasunguwaliranga Inu ne mbayiganyanga okutuuka mu bibuga eby'ewanzq. \p \v 12 Awo bwe nabbaire nga njaba e Damasiko nga nina obuyinza n'okulagirwa okwaviire eri bakabona abakulu, \v 13 mu ituntu, kabaka, ne mbona mu ngira omusana ogwaviire mu igulu ogusinga okwaka kw'eisana ne gumasamasa ne guneetooloola n'ababbaire batambula nanze. \v 14 Ne tugwa fenafena wansi ne mpulira eidoboozi nga litumula nanze mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Niikyo kizibu iwe okusamba ku miwunda. \p \v 15 Nze ne nkoba nti Niiwe ani, Mukama wange? Mukama waisu n'ankoba nti Niinze Yesu, gw'oyiganya iwe. \v 16 Naye golokoka, oyemerere ku bigere byo: kyenvire nkubonekera, nkulonde obbenga omuweereza era omujulizi w'ebyo mw'omboneire era ow'ebyo mwe nakubonekeranga, \v 17 nga nkuwonya mu bantu no mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaiso gaabwe, \v 18 bakyuke okuva mu ndikirirya baire eri omusana n'okuvamu buyinza bwa Setaani baire eri Katonda, kais baweebwe okutoolebwaku ebibbiibi n'obusika mu abo abatukuzibwa okw'okwikirirya nze. \p \v 19 Kale, kabaka Agulipa, tinalemere kugondera okwolesewa okw'omu igulu: \v 20 naye nasookere okubuulira ab'omu Damasiko no mu Yerusaalemi, era n'ensi yonayona ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolonga ebikolwa ebisaaniire okwenenya. \p \v 21 Abayudaaya kyebaviire bankwata mu yeekaalu ne bageziaku okungita. \v 22 Kale bwe nafunire okubbeerwa okwava eri Katonda, Okutuusia ku lunaku luno nyemereire nga ntegeeza abatobato n'abakulu, nga tintumula kigambo wabula banabbi ne Musa bye batumwire nga byaba okwiza; \v 23 ne kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era iye bw’alisooka mu kuzuukira kw’abafu okubuulira omusana abantu n’ab’amawanga. \p \v 24 Bwe yawozerye atyo Fesuto n'akoba n'eidoboozi inene nti Olalukire, Pawulo: okusoma okwo okungi kukukyusia okubba omulalu. \v 25 Naye Pawulo n'akoba nti Tindalukire, Fesuto omusa einu, naye ntumula ebigambo eby'amazima eby'obuntu bulamu. \v 26 Kubanga kabaka amaite ebigambo bino, gwe ntumulira mu maiso ge n'obugumu. Kubanga maite ebigambo bino tibyegisire eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakoleibwe mu bwibbi. \v 27 Oikirirya banabbi, kabaka Agulipa? Maite ng'oikirirya. \v 28 Agulipa n'akoba Pawulo nti Otaka kunsendasenda onfuule Omukristaayo; \v 29 Pawulo n'akoba nti Nandisabire Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene ti niiwe wenka era naye ne bonabona abampulira atyanu okufuuka nga nze awabula kusibibwa kuno. \p \v 30 Kabaka n'agolokoka n'oweisaza na Berenike n'ababbaire batyaime awamu nabo; \v 31 bwe bairireyo eika, ne batumula bonka na bonka nga bakoba nti Omuntu ono takolere ekisaaniire okumwitisya oba okumusibisya. \p \v 32 Agulipa n'akoba Fesuto nti Omuntu ono yandisiboire okulekulibwa, singa teyajuliire Kayisaali. \c 27 \cl Ensuula 27 \p \v 1 Awo bwe kyalagiirwe ife okuwanika amatanga okwaba Italiya, ne bawaayo Pawulo n'abasibe abandi abamu eri omwami, eriina lye Yuliyo, ow'ekitongole kya Augusito. \v 2 Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyabbaire kyaba ku njuyi gy'e Asiya, ne tuvaayo, Alisutaluuko ow'e Makedoni ow'omu Sesalonika yeena ng'ali naife. \v 3 Ku lunaku olw'okubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola kusa Pawulo n'amwikirisya okwaba eri mikwanu gye okumulabirira. \v 4 Ne tuvaayo ne tubita ku mbali kwa Kupulo kubanga omuyaga gwabbaire gutuva mu bwengula. \v 5 Bwe twabitire mu nyanza ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky’e Lukiya. \v 6 Omwami n'abonayo ekyombo eky'e Alegezanderiya nga kigenda Italiya; n'atusaabalya mu ekyo. \v 7 Bwe twayabire empola enaku nyingi ne tutuuka lwe mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobeire, ne tubita ku mbali ga Guleete mu maso ga Salumone; \v 8 ne tukibitaku lwe mpaka ne tutuuka mu kifo ekyetebwa Emyalo Emisa; awaliraine ekibuga Lasaya. \p \v 9 Bwe bwetwabitirewo ebiseera bingi, obubbiibi bwabbaire bumalire okubbaawo okwaba mu nyanza kubanga enaku eg'yOkusiiba gyabbaire gibitire, Pawulo n'abalabula \v 10 ng'abakoba nti Abasaiza, mbona nti olugendo luno lulibbaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi ti kwe bintu byonka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaisu. \v 11 Naye omwami n'aikirirya omubbinga no mwene we kyombo okusinga Pawulo by'atumwire. \v 12 Kubanga omwalo tegwabbaire musa okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesia okuvaayo, koizi kaisi batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; niigwo mwalo ogw'e Kuleete ogulingirira wakati w'obukiika n'ebuvaisana, no wakati w'obukiika obundi n'ebuvaisana. \v 13 Empewo egy'omuigundu bwe gyakuntire empola, ne balowooza nti bafunire kye babbaire bataka, ne basimbula esiika ne babita kumpi inu ne Kuleete. \v 14 Naye oluvanyuma lw'ebiseera ti bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwaviireyo ogwetebwa Ewulakulo ne gukunta: \v 15 ekyombo bwe kyakwatiibwe ne kitasobola kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga. \v 16 Ne tweyuna mu mbali g'akazinga aketebwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato: \v 17 bwe baamalire okuliniinisia, ne kwata emiguwa egy'okunywezia ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe batiire okusuulibwa mu Suluti, ne baikya ebyabbaire waigulu, ne batwalibwa omuyaga. \v 18 Bwe twateganire einu n'omuyaga, ku lunaku olw'okubiri ne basiikulula ebintu, \v 19 era ku lw'okusatu ne basuula n'emikono gyabwe ebitwala ekyombo. \v 20 Era eisana waire emunyenye mu naku nyingi nga tebyaka, era n'omuyaga ti mutono ogwatukwaite, oluvannyuma eisuubi lyonna ery'okulokoka ne rituwaamu. \p \v 21 Enjala bwe yabbaire enyingi, awo Pawulo kaisi n'ayemerera wakati waabwe n'akoba nti Kyabagwaniire, abasaiza, okumpulira obutava mu Kuleete, obutabona kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa. \v 22 Era atyanu mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabbe mu imwe eyafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo. \v 23 Kubanga we ndi wemereire obwire buno malayika wa Katonda, niinze owuwe, gwe mpeereza, \v 24 ng'akoba nti Totya, Pawulo; kikugwaniire okwemerera awali Kayisaali; era, bona, Katonda akuwaire bonabona abaaba awamu naiwe. \v 25 Kale mugume emyoyo, abasaiza; kubanga ngikirirya Katonda nga kiribba nga bwe yankobere. \v 26 Naye kitugwaniire okusuulibwa ku kizinga. \p \v 27 Naye obwire ebw'eikumi n'eina bwe bwatuukire, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu itumbi abalunyanza ne bateeberezerye nti balikumpi okusemberera eitale; \v 28 ne bagera ne babona ebifubba abiri: bwe twayabireku katono, ne bagera era, ne babona ebifubba ikumi na bitaanu. \v 29 Bwe batiire okutyerera awali amabbaale, ne basuula amasiika ana ku kiwenda ne balindirira bukye. \v 30 Abalunyanza bwe babbaire bataka okwiruka mu kyombo ne bamala okuteeka eryato mu nyanza ng'abaaba okusuula amasiika ku nsanda, \v 31 Pawulo n'akoba omwami n'abasirikale nti Bwe bataabbe bano mu kyombo, imwe temwasobole kulokoka. \v 32 Basirikale kaisi ne basala emiguwa egy'eryato ne balireka okwaba. \p \v 33 Awo bwe bwabbaire bulikumpi okukya, Pawulo n'abeegayirira bonabona okulya ku mere, ng'akoba nti Atyanu lunaku lwe ikumi na ina gye mwakalindiririra nga musiiba ne mutalya kantu. \v 34 Kyenva mbeegayirira okulya ku mere: kubanga okwo kwabalokola: kubanga tewaabule luziiri ku mitwe gyanyu n'omumu. \v 35 Bwe yamalire okutumula atyo n'akwata omugaati, ne yeebalirya Katonda mu maiso ga bonabona n'agumenyamu n'atandiika okulyaku. \v 36 Bonabona ne baguma emyoyo, boona ne balyaku. \v 37 Ne tuba fenafena abaali mu kyombo emyoyo bibiri mu nsanvu mu mukaaga. \v 38 Bwe baamalire okwikuta emere, ekyombo ne bakiwewula nga basuula eŋaanu mu nyanza. \p \v 39 Bwe bwakyeire amakeeri, nga tebamaite gye bali: naye ne babona ekikono ekiriku omusenyu; ne bateesia, oba nga kisoboka, okuseezia omwo ekyombo. \v 40 Ne bakutula amasiika, ne bagaleka mu nyanza, mu kiseera ekyo bwe baasumulwire emigwa egy'enkasi ebbinga, ne bawanika eitanga edi mu maiso eri empewo ne boolekera ku itale. \v 41 Naye bwe baatuukiire mu kifo amayengo mabiri we gaasisinkana, ne baseezia ekyombo; ensanda n'eseera n'eguma n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaani g'amayengo. \p \v 42 Basirikale ne bateesia abasibe baitibwe baleke okugwera okwiruka. \v 43 Naye omwami bwe yatakire okuwonya Pawulo, n'abaziyizia okukola kye bateeserye; n'alagira abasoboire okugwera okwesuulamu basooke okutuuka ku itale; \v 44 n'abandi abaasigairewo, abamu ku mpero, n'abamu ku bintu by'ekyombo. Awo bwe batyo bonabona ne batuuka ku itale emirembe. \c 28 \cl Ensuula 28 \p \v 1 Bwe twamalire okulokoka ne kaisi netutegeera ng'ekizinga kyetebwa Merita. \v 2 Banaigwanga ne batukola obusa obutali bwa bulijo: kubanga baakumire omusyo, ne batusembezia fenafena olw'amaiz agatoonyere n'olw'empewo. \v 3 Naye Pawulo bwe yakuŋaanyirye omuganda gw'obuku, n'aguteeka mu musyo, embalasaasi n'evaamu olw'eibbugumu n'emweripa ku mukono. \v 4 Banaigwanga bwe baboine ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bakoba bonka na bonka nti Mazima omuntu ono mwiti; waire ng'alokokere mu nyanza, omusango tegumuganisya kubba mulamu. \v 5 Naye n'akunkumulira mu musyo ekyekulula n'atabbaaku kabbiibi. \v 6 Naye badi ne balowooza nti yazimba oba yasinduka, okugwa edi nga mufu: naye bwe baalwirewo einu nga bamulingirira ne batabona kibbiibi ky'abbaireku, ne bakyuka ne bakoba nti katonda. \p \v 7 Wabbairewo kumpi n'ekifo ekyo ensuku g'yomuntu omukulu w'ekizinga, eriina ne Pubuliyo: oyo n'atusembezia n'atuijanjabira n'ekisa enaku isatu. \v 8 Awo Itaaye wa Pubuliyo yabbaire agalamiire, ng'alwaire omusuja n'ekiidukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amuteekaku emikono n'amuwonya. \v 9 Ekyo bwe kyakoleibwe, abandi boona ababbaire ku kizinga ababbaire n'endwaire ne baiza ne bawonyezebwa: \v 10 era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twabbaire tuvaayo ne baleeta ku lyato ebintu bye twetaaga. \p \v 11 Emyezi isatu bwe gyabitirewo, ne tuviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyabbaire ku kizinga mu biseera eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo. \v 12 Ne tubbinga mu Sulakusa ne tumalayo enaku isatu: \v 13 ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe wabitirewo olunaku lumu, empewo egy'omugundu ne gikunta, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Putiyooli; \v 14 gye twasangire ab'oluganda ne batweta okumala wamu nabo enaku musanvu: awo tutyo ne tutuuka e Roomo \v 15 Ab'oluganda bwe baawuliire ebigambo byaisu ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yababoineku ne yeebalya Katonda n'aguma omwoyo. \p \v 16 Bwe twayingiire mu Rooma, Pawulo n'alagirwa okubba yenka wamu ne sirikale eyabbaire amukuuma. \p \v 17 Awo bwe wabitirewo enaku isatu, n'ayeta abakulu b'Abayudaaya: bwe baamalire okukuÅ‹aana n'abakoba nti Nze, abasaiza ab'oluganda, waire nga tinasookere kibbiibi ku bantu waire ku mpisa gya bazeiza baisu, naye nasibiibwe ne mpeebwayo mu mikono gy'Abarooma mu Yerusaalemi: \v 18 abo bwe baamalire okunkemererya ne bataka okunsumulula, kubanga tegwabbaire nsonga gye ndi yo kungitisya. \v 19 Naye Abayudaaya bwe baagaine, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, Ti ng'alina ekigambo okuloopa eigwanga lyaisu. \v 20 Kale olw'ensonga eyo mbetere okumbona n'okutumula nanze: kubanga olw'eisuubi lya Isiraeri nsibiibwe n'olujegere luno. \p \v 21 Ibo ne bamukoba nti Ife so tetuweebwanga bbaluwa gye bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so wabula ku b'oluganda eyabbaire aizire n'atubuulira oba n'atumula ekigambo ekibbiiibi ku iwe. \v 22 Naye tutaka okuwulira okuva gy'oli eby'olowooza: kubanga ebigambo by'enjikirirya eno, tumaite nti kiwerebwa wonawona. \p \v 23 Ne bamulaga olunaku ne baiza bangi gy'ali mu kisulo; n'abanyonyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abaikirizisya ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa no mu bya banabbi okuva emakeeri okutuusia eigulo. \v 24 Abamu ne baikirirya bye yatumwire, abandi ne bataikirirya. \v 25 Bwe batatabagaine bonka na bonka, ne baaba, Pawulo bwe yamalire okutumula ekigambo kimu, nti Omwoyo Omutukuvu yakobere kusa Bazeiza banyu mu nabbi Isaaya \v 26 ng'akoba nti Yaba eri abantu bano, otumule nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okubona mulibona, ne muteetegeerezia: \v 27 Kubanga omwoyo gw'abantu bano gusavuwaire, N'amatu gaabwe bawulira kubbiibi, N'amaiso gaabwe bagazibire; Baleke okubona n'amaiso, N'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omwoyo gwabwe, N'okukyuka, Nze okubawonya. \p \v 28 Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeibwe ab'amawanga: boona balibuwulira. \v 29 Bwe yatumwire ebigambo ebyo, Abayudaaya ne baaba nga bawakana inu bonka na bonka. \p \v 30 N'amalayo emyaka ibiri miramba ewuwe yenka mu nyumba gye yapangisirye, n'asembezanga bonabona abaizanga gy'ali, \v 31 ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayegeresyanga n'obugumu bwonabwona ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, n'ataziyizibwanga.