19.Yesu nayetejja nti bakwendya okumubulya,nabakoba nti mukwebulyaganya nywe nkai olwekyo kyembakobere nti wasigaireyo akaseera kadooli,nemutambonna,era wasigairewo akaseera kadooli nemumbonna? 20.Ddaladdala mbakoba nti muuli kunga abiwoobe,naaye eyayinga erisemerwa:nywe mulinakuwaala,naaye enaaku zanywei ziriffuka essanyu.p 21.omukali bwabyaala abonna enaku,kubanga ekiseera kyamwei kikire:naaye omwaana namala okubyalibwa nga abatakyaizukira kulumwa olwa ssanyu olwokubyaala omuuntu omu nsi.