\v 4 Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okugisamu ebyokulwanisya, Omuwanikibwa engabo olukumi, Engabo gyonagyona egy'abasaiza ab'amaani. \v 5 Amabeere go gombiri gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga.