\v 17 Asaasira akola okusa emeeme ye iye: Naye omukambwe ateganya omubiri gwe iye. \v 18 Omwibbi afuna empeera emubbeyabbeya: Naye oyo asiga obutuukirivu abba n'empeera ey'enkalakalira.