\v 25 Ng'amaizi amawolu bwe gabba eri emeeme erumya enyonta, Ebigambo ebisa ebiva mu nsi ey'ewala bwe bibba bityo. \v 26 Ng'ensulo etabangukire, n'ensulo eyonoonekere, Omuntu omutuukirivu bw'abba atyo bw'asegulira omubbiibi.