\v 16 Oboine omubisi gw'enjoki? lyangaku ogwakumala obumali; Olekenga okugwikuta n'ogusesema. \v 17 Ekigere kyo tekiriniinanga mirundi mingi mu nyumba ya mwinawo; Alekenga okukunyiwa n'akukyawa.