\v 5 Okuteesya okw'omu mwoyo gw'omuntu kuli ng'amaizi ag'omu nsulo empanvu; Naye omuntu alina okutegeera alikusena. \v 6 Abantu bangi abalirangira buli muntu ekisa kye ye: Naye omuntu omwesigwa yani asobola okumubona?