\v 9 Omwoyo gw'omuntu guteesya engira ye: Naye Mukama niiye aluŋamya ebigere bye. \v 10 Obulaguli bubba mu munwa gwa kabaka: omunwa gwe tegulisobya mu kusala omusango.