\v 19 Omunwa ogw'amazima gwanywezebwanga emirembe gyonagyona: Naye olulimi olubbeyi lwa kaseera buseera. \v 20 Okudyekadyeka kuli mu myoyo gy'abo abateesya obubbiibi: Naye abateesya emirembe babba n'eisanyu.