\v 1 Ataka okubuulirirwa ataka okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa alisooti nsolo. \v 2 Omuntu omusa yaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe embiibbi alimusalira omusango okumusinga.