\v 12 Omuntu abulaku ky'agasa, omusaiza ow'obutali butuukirivu; Atambula ng'alina omunwa omubambaavu; \v 13 Atemya amaiso, atumulya bigere bye, Abagula n'engalo gye;