\v 1 Okutegeka omwoyo kugwanira muntu: Naye okwiramu kw'olulimi kuva eri Mukama. \v 2 Amangira gonagona ag'omuntu gabba malongoofu mu maiso ge iye: Naye Mukama apima emyoyo.