\v 1 Amagezi tegatumulira waigulu N'okutegeera tekuleeta eidoboozi lyakwo? \v 2 Enguudo we gisibuka mu ngira Mu masaŋangira we gemerera; \v 3 Ku mbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enjigi gatumulira waigulu: