\v 8 Yasamanga omunwa gwo olwa kasiru, Okuwozya ensonga y'abo bonabona abalekebwa nga babula bainabwe. \v 9 Yasamanga omunwa gwo osalenga emisango egy'ensonga, Osalirenga emisango omwavu n'eyeetaaga.