\v 4 Ti kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So ti kwa balangira okutumulanga nti Ekitamiirya kiri waina? \v 5 Balekenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne banyoola omusango gw'omuntu yenayena abonyaabonyezebwa.