\v 15 Omwigo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwatisya maye ensoni. \v 16 Ababiibi bwe beeyongera, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu baliringirira okugwa kwabwe.