\v 25 Ow'omwoyo ogw'omuwudu guleeta okutongana: Naye eyeesiga Mukama aligeiza. \v 26 Eyeesiga omwoyo gwe iye musirisiru: Naye atambula n'amagezi niiye aliwonyezebwa.