\v 5 Omuntu ow'amagezi abba wa maani; Niigwo awo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza. \v 6 Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesya okw'amagezi: Era mu bateesya ebigambo abangi niimwo muli emirembe.