\v 19 Ow'oluganda anyiigire kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaani: Era enyombo egiri gityo giri ng'ebisiba eby'ekigo. \v 20 Ekida ky'omuntu kiriikuta ebibala eby'omunwa gwe; Ekyengera eky'omu munwa gwe niikyo ekirimumala.