\v 15 Omwoyo gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'ekitu ky'ab'amagezi kisagira okumanya. \v 16 Ekirabo eky'omuntu kimusegulirya, Era kimutuukya mu maiso g'abakulu.