\v 5 Omuntu omutuukirivu akyawa obubbeyi: Naye omuntu omubbiibi mugwagwa, era akwatibwa ensoni. \v 6 Obutuukirivu bukuuma oyo akwata engira engolokofu: Naye ekyeju kisuula oyo alina ebibbiibi.