\v 1 Omwana ow'amagezi awulira okwegeresya kwa itaaye: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa. \v 2 Omuntu yalyanga ebisa olw'ebibala eby'omunwa gwe: Naye emeeme ey'abasala enkwe yalyanga kukokerwa kyeju.