\v 12 Anyooma mwinaye abulwa amagezi: Naye omuntu alina okutegeera asirika. \v 13 Atambulatambula ng'alyolyoma abiikula ebyama: Naye oyo alina omwoyo omwesigwa agisa ekigambo.