\v 13 Awo n'amukwata n'amunywegera, N'amukoba ng'amusimbire amaiso nti \v 14 Sadaaka egy'ebiweebwayo olw'emirembe giri wange; Atyanu malire okusasula obweyamu bwange. \v 15 Kyenviire nfuluma okukusisinkana, Okunyiikira okusagira amaiso go, era nkuboine.